Era yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi: abaana ba Isiraeri ne bambukanga gy'ali okubasaliranga emisango.
N'atuma n'ayita Balaki, mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesunafutaali, n'amugamba nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, talagidde nti Genda mukuŋŋaanire eri olusozi Taboli, otwale naawe abasajja kakumi ku baana ba Nafutaali ne ku baana ba Zebbulooni?
Balaki n'ayita Zebbulooni ne Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi; ne bayambukayo abasajja kakumi nga balinnya mu bigere bye: Debola n'ayambukira wamu naye.
Era Keberi Omukeeni yali ayawukanye n'Abakeeni, be baana ba Kobabu mukoddomi wa Musa, n'azimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi.
Naye Sisera n'adduka n'ebigere n'atuuka mu weema ya Yayeeri mukazi wa Keberi Omukeeni: kubanga Yabini kabaka we Kazoli n'ennyumba ya Keberi Omukeeni baali balina emirembe:
N'amugamba nti yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti Omusajja yenna ali muno? naawe onooyogera nti Nedda.