ne basiisira ewaabwe, ne bazikiriza ebibala by'ettaka, okutuusa bw'otuuka e Gaaza so tebaaleka kya kulya mu Isiraeri, newakubadde endiga, newakubadde ente, newakubadde endogoyi.
Mukama n'atuma,nnabbi eri abaana ba Isiraeri: n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nabaggya mu Misiri ne mbalinnyisa, era nabaggya mu nnyumba y'obuddu;
Gidyoni n'amugamba nti Ai mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale ekitubeesezzaako ebyo byonna kiki? era ebikolwa bye hyonna eby'ekitalo biri ludda wa bajjajjaffe bye baatubuulirako, nti Mukama teyatuggya mu Misiri? naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani.
N'amugamba nti Ai Mukama wange, Isiraeri ndimulokolera ku ki? laba, baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto mu nnyumba ya kitange.
Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gulinnya, ne gumalawo ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa; malayika wa Mukama n'ava mu maaso ge.
Awo olwatuuka mu kiro ekyo Mukama n'amugamba nti Ddira ente ya kitaawo, ye nte ey'okubiri ey'akamaze emyaka omusanvu, osuule ekyoto kya Baali kitaawo ky'alina, otemeeteme ne Asera akiri okumpi:
Yowaasi n'agamba bonna abamuyimiridde mu maaso ge nti Mwagala okuwolereza Baali? oba mwagala okumulokola? ayagala okumuwolereza, bamutte nga (bukyali) bwa nkya: oba nga ye katonda, yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.
laba, naateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; oba ng'omusulo gunaaba ku byoya byokka, ettaka lyonna nga kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera.