Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali ku luuyi lwabwe olw'obuluika obwa kkono, ku mabbali g'olusozi Mole, mu kiwonvu.
Ka1e nno kaakano genda olangire mu matu g'abantu nti Buli atya akankana, addeyo ave ku lusozi Gileyaadi. Ne waddayo ku bantu bukumi bubiri mu enkumi bbiri; ne wasigalawo kakumi.
Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu bakyayinze obungi; baserengese ku mazzi; nange naabakukemerera eyo: awo olunaatuuka eyo gwe nnaakugamba nti Ono anaagenda naawe, ye anaagenda naawe; era buli gwe nnaakugamba nti Ono taagende naawe, ye ataagende naawe.
Awo n'aserengesa abantu ku mazzi: Mukama n'agamba Gidyoni nti Buli anaakomba ku mazzi n'olulimi, ng'embwa bw'ekomba, oyo gw'onooyawulamu; era bw'atyo buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa.
Mukama n'agamba Gidyoni nti Nnaabalokola n'abasajja ebikumi bisatu abaakombye n'olulimi, ne ngabula Abamidiyaani mu mukono gwo: era abantu bonna beddireyo buli muntu mu kifo kye.
era onoowulira bye boogera; emikono gyo ne giryoka giba n'amaanyi okuserengeta mu lusiisira: Awo n'aserengeta ne Pula omuddu we ne bayingira mu basajja abaalina ebyokulwanyisa abaali mu lusiisira ku nkomerero yaalwo.
Awo Gidyoni bwe yatuuka, laba, nga waliwo omusajja abuulira munne ekirooto n'ayogera nti Laba, naloota ekirooto, era, laba, omugaati ogwa sayiri ne gugwa mu lusiisira lwa Midiyaani, ne guyingira mu weema, ne gugikuba n'egwa, ne gugivuunika, eweema n'egalamira bugalamizi.
Munne n'addamu n'ayogera nti Ekyo kitala kya Gidyoni mutabani wa Yowaasi omusajja wa Isiraeri so si kirala mu mukono gw'oyo Katonda mw'agabudde Midiyaani n'eggye lyonna.
N'ayawulamu abasajja bali ebikumi bisatu n'abafuula ebisinde bisatu, n'abakwasa bonna amakondeere mu ngalo zaabwe, n'ensuwa enkalu, ebitawuliro nga biri mu nsuwa.
Nze bwe nnaafuuwa ekkondeere, nze ne bonna abali nange, nammwe ne mulyoka mufuuwa amakondeere ku njuuyi zonna ez'olusiisiira lwonna, ne mwogera nti Ba Mukama era ba Gidyoni.
Awo Gidyoni n'abasajja kikumi abaali naye ne batuuka ku nkomerero y'olusiisira ekisisimuka ekya wakati nga kyekijje kitanule nga kyebajje basseewo abakuumi ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa, ezaali mu ngalo zaabwe.
Ne bafuuwa amakondeere ebikumi bisatu, Mukama n'alwanyisa buli muntu ekitala kye okufumita munne era n'eggye lyonna: eggye ne lidduka okutuuka ku Besusitta mu kkubo 1y'e Zerera, okutuuka ku nsalo ya Aberumekola ku mabbali g'e Tabbasi.
Gidyoni n'atuma ababaka okubuna ensi yonna eya Efulayimu ey'ensozi nga boogera nti Mujje muserengete ku Midiyaani, mubasooke okwekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani: Awo abasajja bonna aba Efulayimu ne bakuŋŋaanyizibwa, ne beekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani.
Ne bakwata abalangira ba Midiyaani bombi, Olebu ne Zeebu; ne battira Olebu ku jjinja lya Olebu, ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero lya Zeebu, ne bagoberera Midiyaani: ne baleetera Gidyoni emitwe gya Olebu ne Zeebu emitala wa Yoludaani.