Awo Yerubbaali, ye Gidiyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bazuukuka mu makya, ne basiisira ku lusozi Harodi. Olusiisira lw'Abamidiyaani lwali mu kiwonvu, ku ludda lwabwe olw'ebukiikakkono ku mabbali g'Olusozi More.
Kale nno kaakano langirira mu bantu nti: ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku Lusozi Gileyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu ne basigala.
Awo Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Abantu bakyayinze obungi. Baserengese ku mazzi, mbakulonderemu eyo. Oyo gwe nnaakugamba nti anaagenda naawe, oyo ye anaagenda naawe. Era buli gwe nnaakugamba nti ono tagenda naawe, ye ataagende naawe.”
Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba, baali babisse ekiwonvu, nga bali ng'enzige obungi, era n'eŋŋamiya ze balina butabalika, ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
Gidiyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti: “Naloose omugaati gwa bbaale, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.”
N'ab'ebibinja ebirala ebibiri ne bakola kye kimu. Bonna ne bakwata emimuli mu mikono gyabwe egya kkono, n'eŋŋombe mu gya ddyo, ne baleekaana nti: “Ekitala kya Mukama era kya Gidiyoni!”
Abasajja ba Gidiyoni bwe bafuuwa eŋŋombe zaabwe, Mukama n'aleetera ab'eggye ly'omulabe okulumbagana bokka na bokka, buli omu ng'alwanyisa munne n'ekitala. Ne badduka okutuuka e Betusitta, okwolekera Zerera, okutuuka ku nsalo ne Abeli Mewola, okumpi ne Tabbati.
Ne bakwata abalangira ba Midiyaani ababiri Orebu ne Zeebu, ne battira Orebu ku Lwazi lwa Orebu, ne Zeebu ne bamuttira mu Ssogolero lya Zeebu. Ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Emitwe gya Orebu ne Zeebu ne bagireetera Gidiyoni emitala wa Yorudaani.