Katonda agabudde mu mukono gwammwe abalangira ba Midiyaani, Olebu ne Zeebu: era nze nandiyinzizza kukola ki okukyenkanyankaaya nammwe? Awo obusungu bwabwe ne bulyoka bukkakkana gy'ali, bwe yamala okwogera bw'atyo.
N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti Mbeegayiridde, bawe emigaati abantu abangoberera;kubanga bakooye, era ngoberera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.
Gidyoni n’ayogera nti Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka nsika omubiri gwammwe n'amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo.
Era Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe awamu nabo, abasajja nga kakumi mu enkumi ttaano, bonna abaafikkawo ku ggye lyonna ery'abaana b'ebuvanjuba: kubanga abasajja abaasowolanga ebitala baali bafudde kasiriivu mu obukumi bubiri.
N'ajja eri abasajja ab'omu Sukkosi, n'ayogera nti Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe okubawa emigaati abasajja bo abakooye?
Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya? Ne baddamu nti Ggwe nga bw'oli nabo bwe baali; buli omu yafaanana abaana ba kabaka.
Zeba ne Zalumunna ne balyoka boogera nti Golokoka ggwe otugweko: kubanga omusajja nga bw'ali, n'amaanyi ge bwe gali bwe gatyo Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala emyezi egyali ku nsingo z'eŋŋamira zaabwe.
Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti Tufuge ggwe ne mutabani wo era n'omwana wa mutabani wo: kubanga otulokodde mu mukono gwa Midiyaani.
N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu; obutassaako myezi, na byakulengejja, na byambalo bya fulungu bakabaka ba Midiyaani bye baali bambadde, era obutassaako mikuufu egyali mu nsingo z'eŋŋamira zaabwe.
Gidyoni n'abikoza ekkanzu, n'agiteeka mu kibuga kye, mu Ofula: ne Isiraeri yenna ne bagenda ne bagigoberera eyo okwenda nayo: n'efuuka kyambika eri Gidyoni n'eri ennyumba ye.
Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne bakyuka nate, ne bagenda bayenda okugoberera Babaali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.