Mbeegayiridde, mwogerere mu matu g'abasajja bonna ab'e Sekemu nti Ekisinga obulungi gye muli kiruwa batabani ba Yerubbaali bonna, be bantu ensanvu, okubafuganga, nantiki omu okubafuganga? era mujjukire nga nze ndi wa ku magumba gammwe n'omubiri gwammwe.
Awo baganda ba nnyina ne bamwogerera ebigambo ebyo byonna mu matu g'abasajja ab'e Sekemu: emitima gyabwe ne gyagala okugoberera Abimereki; kubanga baagamba nti Ye muganda waffe.
N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be batabani ba Yerubbaali, be bantu ensanvu, ku jjinja limu: naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'afikkawo; kubanga yeekweka.
N'abasajja bonna ab'omu Sekemu ne bakuŋŋaana n'ennyumba yonna eya Mmiiro, ne bagenda ne bafuula Abimereki kabaka, awali omwera oguliraanye empagi eyali mu Sekemu.
Omweramannyo ne gugamba emiti nti Oba nga munfukako amafuta okuba kabaka mazima ddala, kale mujje mwesige ekisiikirize kyange: naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu mweramannyo gumalewo emivule egy'oku Lebanooni.
Kale nno, oba nga mwakola eby'amazima n'eby'obutuukirivu, okufuula Abimereki kabaka, era oba nga mwakola bulungi Yerubbaali n'ennyumba ye, ne mumukola ng'emikono gye bwe gyasaanira (okumukola);
nammwe mugolokose leero ku nnyumba ya kitange, era mwattira batabani be, abantu nsanvu, ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abasajja ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe;)
naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu Abimereki, gumalewo abasajja ab'omu Sekemu n'ennyumba ya Mmiiro, era omuliro guve mu basajja ab'omu Sekemu ne mu nnyumba ya Mmiiro gumalewo Abimereki.
Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali: ne babuulira Abimereki.
Gaali mutabani wa Ebedi n'ayogera nti Abimereki ye ani, ne Sekemu ye ani, ffe okumuweereza? si ye mutabani wa Yerubbaali? ne Zebbuli omumyuka we (ye ani)? muweereze abasajja ba Kamoli kitaawe wa Sekemu: naye ffe kiki ekyandituweerezesezza oyo?
N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be batuuse mu Sekemu; era, laba, bawaliriza ekibuga okukulwanyisa.
Awo Gaali bwe yalaba abantu, n’agamba Zebbuli nti Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi: Zebbuli n'amugamba nti Olaba ekisiikirize ky'ensozi nga kifaanana ng'abantu.
Awo Zebbuli n'alyoka amugamba nti Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wayogera nti Abimereki ye ani, ffe okumuweereza? bano si be bantu be wanyooma? kaakano, nkwegayiridde, fuluma olwane nabo.
Abimereki n'ebisinde ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga: ebisinde ebibiri ne bafubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba.
Naye mu kibuga mwalimu ekigo eky'amaanyi, omwo mwe baddukira abasajja bonna n'abakazi, ne bonna ab'ekibuga, ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo.