Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'agenda okutuula mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi.
N'erinnya ly'omusajja lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we Nawomi, n'erinnya lya batabani be bombi Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo.
Awo n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo ng'ava mu nsi ya Mowaabu: kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yajjira abantu be ng'abawa emmere.
Awo Nawomi n'agamba baka baana be bombi nti Mugende muddeyo buli omu ku mmwe mu nnyumba ya nnyina: Mukama abakole eby'ekisa, nga mmwe bwe mwakola abaafa era nange.
Awo Luusi n'ayogera nti Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera: kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange:
Awo abo bombi ne batambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu. Awo olwatuuka bwe baamala okutuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, abakazi ne boogera nti Ono Nawomi?
Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu: kiki ekibampisa Nawomi, kubanga Mukama yategeeza ku nze, era Omuyinza w'ebintu byonna yambonyaabonya?
Bwe batyo Nawomi n'akomawo, ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, wamu naye, eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu: ne batuuka e Besirekemu nga kyebajje bakungule sayiri.