BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Mu nnaku abalamuzi we baali bafugira, enjala yagwa mu nsi. Omusajja n'ava e Beteleemu ekya Yuda, ng'ali ne mukazi we n'abaana be babiri, n'agenda agire ng'abeera mu nsi y'e Mowabu. |
| 2 |
| Erinnya lye nga ye Elimeleki, ate mukazi we nga ye Nawomi; amannya g'abatabani be ababiri nga be ba Makuloni ne Kiliyoni; baali basibuka Efurata mu Beteleemu ekya Yuda. Baagenda mu nsi y'e Mowabu ne babeera eyo. |
| 3 |
| Olwali olwo Elimeleki bba wa Nawomi n'afa, ye n'asigala ne batabani be ababiri; |
| 4 |
| abalenzi ne bawasa abakazi Abamowabu, omu ng'ayitibwa Orupa, ate omulala Ruusi; ne babeera eyo emyaka nga kkumi. |
| 5 |
| Ate bombi Makuloni ne Kiliyoni ne bafa, Nawomi n'asigala ng'afiiriddwa bba ne batabani be bombi. |
| 6 |
| Bwe yawulira nti Omukama adduukiridde abantu be, n'abawa emmere, kwe kusituka ave mu nsi y'e Mowabu adde ku butaka ne bakaabaana bombi. |
| 7 |
| N'asitula ne bakaabaana bombi, n'ava mu nsi gye yali abeera, ne yessa mu kkubo erimuzza mu nsi ya Yuda. |
| 8 |
| Nawomi n'agamba bakaabaana be ababiri nti: “Muddeeyo buli omu ewa nnyina. Omukama abagirire ekisa, nga nammwe bwe mwakigirira nze n'abagenzi. |
| 9 |
| Omukama abawe, mufune okuwummula buli omu mu maka ga bba.” N'abanywegera. Bo ne batema emiranga ne bakaaba, |
| 10 |
| ne bagamba nti: “Tujja kugenda naawe mu bantu bo.” |
| 11 |
| Naye Nawomi n'abaanukula nti: “Bawala bange, mweddire ewammwe. Lwaki mugenda nange? Nkyalina abaana mu lubuto abalisobola okufuuka babbammwe? |
| 12 |
| Mweddire ewammwe, bawala bange; mugende, nze neekaddiyidde, sikyasobola kufumbirwa. Ne bwe nandigambye nti wakyaliyo essuubi, n'ekiro kino ne nfumbirwa ne nzaala abalenzi, |
| 13 |
| mwandirinze okutuusa nga bakuze? Mwandigize muleka okufumbirwa olw'okubeera bo? Nedda, bawala bange; nnyolwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gw'Omukama gwavaayo okunkuba.” |
| 14 |
| Ne batema emiranga, ne baddamu buto okukaaba. Orupa n'anywegera nnyazaala we, naye ye Ruusi n'amulemerako. |
| 15 |
| Nawomi n'amugamba nti: “Laba muganda wo wuuli azzeeyo mu bantu be n'eri balubaale be, ddayo naye.” |
| 16 |
| Ruusi n'ayanukula nti: “Tonkaka kukuleka, oba kuva ku kya kukugoberera, “kubanga yonna gy'onoogenda nange gye nnaagenda; w'onoosulanga nange we nnaasulanga. Abantu bo be baliba abantu bange; Katonda wo y'aliba Katonda wange. |
| 17 |
| Gy'olifiira, nange gye ndifiira; eyo nange gye balinziika. Omukama ankole bw'atyo, ate ddala asinze nawo, singa si lumbe lwe lulitwawukanya.” |
| 18 |
| Nawomi bwe yalaba nga Ruusi amaliridde okugenda naye, n'alekera awo okumuwakanya. |
| 19 |
| Awo bombi ne bagenda, ne batuuka e Beteleemu. Bwe baayingira ekibuga, ekibuga kyonna ne kisasamala olw'okubeera bo. Abakazi ne bagamba nti: “Ono si ye Nawomi.” |
| 20 |
| N'abagamba nti: “Temumpita Nawomi, wabula Mara, kubanga Omuyinza wa buli kantu obulamu bwange yabujjuza ennyiike. |
| 21 |
| “Nagenda ndi mujjuvu, Omukama ankomezzaawo nga ndi mwereere. Mumpitira ki Nawomi, nze Omukama gwe yabonyaabonya, Omuyinza wa buli kantu gwe yalabya ennaku?” |
| 22 |
| Bw'atyo Nawomi n'ajja ne Ruusi Omumowabu, mukaamwana, ng'adda okuva mu nsi y'e Mowabu. Baatuuka e Beteleemu ng'amakungula ga sayiri gatandika. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/ruth/001.mp3
4
1