Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu Isiraeri, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'asengukira mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi.
N'erinnya ly'omusajja oyo lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we lyali Nawomi, n'amannya ga batabani be bombi gaali Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo.
Awo Nawomi n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo nga ava mu nsi ya Mowaabu, kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yali ayambye abantu be, era nga abawadde ne mmere.
Mukyuke, baana bange, mweddireyo, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyasobola kuba na musajja. Ne bwe nnandibadde n'omusajja ekiro kino ne nzaala abaana ab'obulenzi;
Awo ne batambula bombi okutuuka e Besirekemu. Awo bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe. Awo ne beebuuzaganya nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewaffe nga sirina kantu. Lwaki mumpita Nawomi nga ate Mukama Omuyinza w'ebintu byonna yandabya nnyo ennaku?”