Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa. N'amugamba nti Genda, mwana wange.
n'ayogera nti Nnonde, mbeegayiridde, nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa: awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nnyumba katono.
Amaaso go gabe ku nnimiro, gye banaakungulanga, naawe obagobererenga: sikuutidde balenzi obutakukomangako era ennyonta bw'eneekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku ago abalenzi ge basenye.
Bowaazi n'addamu n'amugamba nti Bambuulirira ddala byonna bye waakakoze nnyazaala wo balo kasooka afa: era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko.
Awo n'ayogera nti Ndabe ekisa mu maaso go, mukama wange; kubanga onsanyusizza, era kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa, newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.
Awo nnyazaala we n'amugamba nti Olonze wa leero? era okoze wa emirimu? aweebwe omukisa oyo akwekkaanyizza. N'ategeeza nnyazaala we oyo bwe yali gw'akoze naye, n'ayogera nti Omusajja gwe nkoze naye leero erinnya lye Bowaazi.