|
| 1 |
|
| Nawomi yalina muganda wa bba, gwe bayita Bowaazi, omusajja ow'amaanyi era omugagga, ow'omu nnyumba ya Elimeleki. |
|
| 2 |
|
| Lwali lumu, Ruusi n'agamba Nawomi nti: “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nkuŋŋaanye ku birimba bya bbaale, abakunguzi bye balekamu, nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” Nawomi n'amugamba nti: “Genda mwana wange.” |
|
| 3 |
|
| Awo Ruusi n'agenda, n'atuuka mu nnimiro, n'alonda ebirimba bya bbaale, abakunguzi bye baalekamu. Awo n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi ow'omu nnyumba ya Elimeleki. |
|
| 4 |
|
| Awo ne Bowaazi yennyini n'ava e Betilehemu, n'alamusa abakunguzi nti: “Mukama abeere nammwe.” Ne bamuddamu nti: “Mukama akuwe omukisa.” |
|
| 5 |
|
| Bowaazi n'abuuza omuweereza we akulira abakunguzi nti: “Omuwala ono avudde wa?” |
|
| 6 |
|
| Omuweereza n'addamu nti: “Ono ye muwala Omumowaabu, Nawomi gwe yakomawo naye ng'ava mu nsi y'e Mowaabu. |
|
| 7 |
|
| Yansabye mmukkirize okukuŋŋaanya ebirimba bya bbaale, omwo abakunguzi mwe bamaze okusiba ebinywa. Awo n'ajja, era asiibye wano ng'akola okuva ku makya, era kati kyajje awummuleko katono mu kasiisira.” |
|
| 8 |
|
| Awo Bowaazi n'agamba Ruusi nti: “Kati wulira mwana wange. Tolekangawo nnimiro eno, n'ogenda mu nnimiro ndala okulonda ebirimba, naye obeeranga wano, kumpi n'abaweereza bange abawala. |
|
| 9 |
|
| Tunulanga olabe gye bakungula, obagobererenga. Nkuutidde basajja bange balemenga okukuziyiza. Era ennyonta bw'ekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku mazzi ge basenye.” |
|
| 10 |
|
| Ruusi n'avuunama ng'obwenyi bwe butuukidde ddala ku ttaka, n'agamba Bowaazi nti: “Kivudde ku ki ggwe okunteekako omwoyo, n'okunkwatirwa ekisa, nze omugwira?” |
|
| 11 |
|
| Bowaazi n'amuddamu nti: “Bambuulira dda byonna by'okoledde nnyazaala wo, kasookedde balo afa, era nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko, n'ensi mw'ozaalibwa, n'ojja okubeera mu bantu be wali tomanyiiko. |
|
| 12 |
|
| Mukama akusasule olw'ebyo bye wakola. Mukama Katonda wa Yisirayeli gwe weeyuna okukukuuma, akuwe empeera enzijuvu.” |
|
| 13 |
|
| Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!” |
|
| 14 |
|
| Awo obudde obw'okulya bwe bwatuuka, Bowaazi n'agamba Ruusi nti: “Jjangu olye ku mmere, okoze ne mu nva.” Ruusi n'atuula wamu n'abakunguzi. Bowaazi n'amuweereza bbaale omusiike. Ruusi n'alya n'akkuta, era n'alemerwawo. |
|
| 15 |
|
| Awo Ruusi bwe yasituka n'addayo okulonda ebirimba, Bowaazi n'agamba basajja be nti: “Mumuleke alonde n'awali ebinywa, temumuvunaana. |
|
| 16 |
|
| Era mumutoolereko ne ku miganda, mugimulekere alonde.” |
|
| 17 |
|
| Ruusi n'alonda ebirimba mu nnimiro okuzibya obudde. Bwe yabiwuula, n'afunamu bbaale ajjuza ekisero ekinene. |
|
| 18 |
|
| N'akomawo mu kibuga, n'alaga nnyazaala we bbaale gw'akuŋŋaanyizza, n'amuwa n'emmere eyali esigaddewo ng'amaze okukkuta. |
|
| 19 |
|
| Nnyazaala we n'amubuuza nti: “Olonze wa olwaleero? Okoze wa? Mukama awe omukisa oyo akutaddeko omwoyo.” Awo Ruusi n'ategeeza nnyazaala we nti yali akoze mu nnimiro y'omusajja gwe bayita Bowaazi. |
|
| 20 |
|
| Nawomi n'agamba mukaamwana we nti: “Mukama bulijjo atuukiriza by'asuubiza abalamu n'abafu, awe omusajja oyo omukisa.” N'ayongera nti: “Omusajja oyo waaluganda lwaffe ddala, omu ku abo abateekwa okutulabirira.” |
|
| 21 |
|
| Ruusi Omumowaabu n'agamba nti: “N'ekirala, aŋŋambye nti nnondenga bbaale n'abakozi be, okutuusa amakungula okuggwaako.” |
|
| 22 |
|
| Nawomi n'agamba Ruusi nti: “Kirungi mwana wange, okolerenga wamu n'abawala abakola mu nnimiro ya Bowaazi oyo, olemenga okutawaanyizibwa mu nnimiro y'omuntu omulala.” |
|
| 23 |
|
| Awo Ruusi n'akolanga n'abo okulonda, okutuusa amakungula ga bbaale n'ag'eŋŋaano lwe gaggwa. Era n'ayongera okubeeranga ne nnyazaala we. |
|
|
|
|