Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n’amugamba nti, “Lwaki sikunoonyeza maka ag’okubeeramu, bakulabiririre eyo? |
| 2 |
| Ewa Bowaazi gy’obadde n’abaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ng’awewa sayiri mu gguuliro. |
| 3 |
| Kale naaba osaabe obuwoowo, era oyambale engoye zo ezisinga obulungi. Oluvannyuma oserengete mu gguuliro; naye tomuganya kumanya nti wooli, okutuusa ng’amaze okulya n’okunywa. |
| 4 |
| Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola.” |
| 5 |
| Awo Luusi n’amugamba nti, “Nzija kukola nga bw’ondagidde.” |
| 6 |
| N’aserengeta mu gguuliro, n’akola byonna nga nnyazaala we bwe yamulagira. |
| 7 |
| Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye. |
| 8 |
| Ekiro mu ttumbi, Bowaazi ne yeekanga, bwe yeekyusa n’alaba omukazi agalamidde kumpi n’ebigere bye. |
| 9 |
| N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika.” |
| 10 |
| Bowaazi n’amuddamu nti, “ Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu. |
| 11 |
| Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza. |
| 12 |
| Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako. |
| 13 |
| Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.” |
| 14 |
| N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.” |
| 15 |
| Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga. |
| 16 |
| Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n’amubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” N’amubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde, |
| 17 |
| era n’ayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, n’aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ” |
| 18 |
| Nawomi n’amugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/ruth/003.mp3
4
3