|
| 1 |
|
| Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n'amugamba nti, “Mwana wange sisaana kukunoonyeza amaka owummule, obe bulungi? |
|
| 2 |
|
| Kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro. |
|
| 3 |
|
| Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, ogende mu gguuliro; naye teweraga gyali okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa. |
|
| 4 |
|
| Awo olunaatuuka bw'anaagalamira n'eyeebaka, wekkaanye ekifo wagalamide, naawe onoyingira n'obikkula ku bigere bye, n'ogalamira awo; naye anaakubuulira bw'onookola.” |
|
| 5 |
|
| Luusi n'amuddamu nti, “Byonna by'oyogedde naabikola.” |
|
| 6 |
|
| N'agenda mu gguuliro, n'akola byonna nga nnyazaala we bweyamulagira. |
|
| 7 |
|
| Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano n'agalamira yeebake. Awo Luusi najja ng'asooba n'abikkula ku bigere bya Bowaazi naye n'agalamira awo. |
|
| 8 |
|
| Awo olwatuuka mu ttumbi Bowaazi bweyawawamuka mu ttulo neyeekyusa, naatya bweyategeera nga omukazi agalamidde awali ebigere bye. |
|
| 9 |
|
| N'abuuza nti, “Ggwe ani?” Omukazi n'addamu nti, “Nze Luusi, omuzaana wo, kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga gwe mununuzi wange.” |
|
| 10 |
|
| Bowaazi n'amugamba nti, “Mukama akuwe omukisa mwana wange, kubanga ku nkomerero olaze obwesigwa bungi mu kika kyaffe, okusinga obwo bwe walaga nnyazaalawo olubereberye; kubanga togoberedde balenzi balala oba baavu oba bagagga. |
|
| 11 |
|
| Kale kaakano mwana wange totya; nja kukukolera byonna by'onsabye, kubanga abantu bonna mu kibuga bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza. |
|
| 12 |
|
| Kya mazima ndi mununuzi wo, naye waliwo ow'oluganda omulala ansinga okuba ow'okumpi. |
|
| 13 |
|
| Beera wano ekiro kino, bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ow'oluganda anaakukolera emirimu gy'oluganda; naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, nze ndigikukolera, nga Mukama bw'ali omulamu, weebake obudde bukye.” |
|
| 14 |
|
| Luusi ne yeebaka okumpi n'ebigere bye okukeesa obudde. N'asituka nga obudde tebunnalaba bulungi omuntu okwekkaanya munne kubanga Bowaazi yayogera nti, “Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.” |
|
| 15 |
|
| Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Ddira omunagiro gwo ogwalirire wansi.” Bowaazi naddira ebigero mukaaga (6) ebya sayiri n'abiyiwaako, n'abimutikka n'amusiibula addeyo mu kibuga. |
|
| 16 |
|
| Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti, “Bigenze bitya, mwana wange?” Luusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde. |
|
| 17 |
|
| N'amugamba nti, “Ebigero bino omukaaga (6) ebya sayiri yabimpadde n'aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo nga tolina kantu.’ ” |
|
| 18 |
|
| Nawomi n'amugamba nti, “Tuula osirike mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo ebyo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamala okutereeza ensonga.” |
|
|
|
|