era mbadde ndowooza okukutegeeza nga njogera nti Kigulire mu maaso g'abo abatuula wano, ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Bw'oyagala okukinunula, kinunule: naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye: kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira. N'ayogera nti Ndikinunula.
Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne: n'okwo kwabanga bujulirwa mu Isiraeri.
Awo abantu bonna abaali mu mulyango n'abakadde ne boogera nti Ffe tuli bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri: naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu:
Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi.