BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Waaliwo omusajja omu ow'e Ramatayimu-Zofimu, mu nsozi za Efurayimu, erinnya lye nga ye Elukana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eliwu, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufi, Omwefurayimu. |
| 2 |
| Yalina abakazi babiri; omu nga ye Anna, owookubiri nga ye Peninna. Peninna yalina abaana, ye Anna nga talina. |
| 3 |
| Omusajja ono, buli mwaka yavanga mu kibuga kye n'ayambuka, asinze n'okutambirira Omukama w'Amagye mu Silo. Eyo waaliyo bakabona b'Omukama babiri, Kofuni ne Finekasi, bombi nga batabani ba Eli. |
| 4 |
| Olunaku bwe lwatuukanga Elukana okutambira, ng'awa Peninna mukazi we n'abaana be bonna abalenzi n'abawala emigabo gyabwe. |
| 5 |
| Anna yamuwanga omugabo gwa mirundi ebiri kubanga yali muganzi; kyokka Omukama yali tamuwadde kuzaala. |
| 6 |
| Naye muggya we yamusosonkerezanga amukalaze kubanga Omukama yali tamuwadde kuzaala. |
| 7 |
| Kino nga kibaawo buli mwaka; Anna buli lwe yatuukanga okwambuka mu Nnyumba y'Omukama, ng'amunyiiza bw'atyo; Anna n'akaabanga n'emmere n'emulema okulya. |
| 8 |
| Bba Elukana n'amugamba nti: “Anna, okaabira ki? Lwaki tolya mmere? Lwaki omutima gwo gukwennyise? Nze sikusingira baana ekkumi ab'obulenzi?” |
| 9 |
| Olumu bwe baamala okulya n'okunywa mu Silo, Anna n'asituka. Eli kabona yali atudde ku ntebe awo ku miryango gy'Ekiggwa ky'Omukama. |
| 10 |
| Anna yali anyolwa mu mutima, n'asaba ew'Omukama ng'akaaba nnyo. |
| 11 |
| Ne yeeyama ew'Omukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama w'Amagye, bw'oliba olabye n'otunuulira okubonaabona kw'omuzaana wo, n'ojjukira omuzaana wo, n'otomwerabira, n'omala omuwa omwana ow'obulenzi, ŋŋenda kumuwa Omukama ennaku zonna ez'obulamu bwe; akamwano tekaliyita mu mutwe gwe.” |
| 12 |
| Bwe yali yeegayirira Omukama, Eli nga yekkaanya akamwa ke. |
| 13 |
| Anna yali ayogera mu mutima gwe, emimwa gye gyokka nga gye gyenyeenya, naye ng'eddoboozi lye teriwulikika. Eli n'alowooza nti atamidde. |
| 14 |
| Eli kwe kumugamba nti: “Oneetamiiza kutuusa wa? Gira evviini ekuliko ekwamukeko.” |
| 15 |
| Anna n'ayanukula n'agamba nti: “Si ky'ekyo, ssebo, wabula mukazi wattu nkabiriddwa mu mwoyo. Sinywedde vviini oba ekitamiiza ekirala kyonna, wabula omutima gwange gwe mbikkulidde Omukama. |
| 16 |
| Omuzaana wo tomuyita mukazi mutamiivu; obwedda neegayirira wano n'okutuusa kati olw'obulumi bwange n'ennaku ebingi.” |
| 17 |
| Awo Eli n'amugamba nti: “Genda mu ddembe, ne Katonda wa Yisirayeli akuwe ky'omusabye.” |
| 18 |
| Ye n'amugamba nti: “Singa nno omuzaana wo asanze ekisa mu maaso go!” Omukazi n'agenda amakubo ge; n'alya ku mmere, era amaaso ge tegaddayo kulaga nnaku. |
| 19 |
| Bwe baazuukuka ku makya, ne basinza mu maaso g'Omukama, oluvannyuma ne baddayo ewaabwe mu Rama. Elukana ne yeebaka ne mukazi we Anna; Omukama n'amujjukira. |
| 20 |
| Ennaku bwe zeetooloola Anna n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma Samweli, ng'agamba nti: “Kubanga namusaba Omukama.” |
| 21 |
| Elukana bwe yayambuka n'ennyumba ye yonna atambirire Omukama ekitambiro ekya buli mwaka, n'okutuukiriza obweyamo, |
| 22 |
| Anna teyayambuka; naye n'agamba bba nti: “Omwana bw'aliva ku mabeere, ndimutwala ne mmwanjula mu maaso g'Omukama, asigalire ddala eyo ebbanga lyonna.” |
| 23 |
| Bba Elukana n'amugamba nti: “Kola nga bw'osiimye; sigala okutuusa omwana lw'onoomuggya ku mabeere; nsaba kimu kyokka, Omukama atuukirize ekigambo kye.” Omukazi n'asigala awaka, n'ayonsa omwana we okutuusa lwe yamuggya ku mabeere. |
| 24 |
| Omwana olwava ku mabeere, Anna n'ayambuka naye e Silo; yatwala ente ennume ya myaka esatu n'efa ssatu ez'obuwunga, n'endyanga y'evviini; n'amuleeta mu Nnyumba y'Omukama mu Silo. Omwana yali akyali muto. |
| 25 |
| Bwe baamala okutta ente ennume, omwana ne bamuleeta ewa Eli. |
| 26 |
| Anna n'agamba Eli nti: “Ssebo, mazima ggwe ng'oli mulamu, nze mukazi oli eyayimirira mu maaso go wano nga nsaba ew'Omukama. |
| 27 |
| Nali nsaba mwana ono; Omukama yampa kye namusaba. |
| 28 |
| Nange kyenvudde mmuwa Omukama; ennaku zonna ez'obulamu bwe aweereddwa ew'Omukama.” Ne basinziza Omukama mu kifo ekyo. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/1samuel/001.mp3
31
1