BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Samweli n'addira ensale y'omuzigo, n'agumuyiwa ku mutwe, n'amunywegera nga bw'agamba nti: “Omukama akusiize omuzigo obeere omukulembeze w'obusika bwe Yisirayeli. Ggwe onoofuga abantu b'Omukama, obawonye mu mikono gy'abalabe baabwe ababeetoolodde. Kuno kw'onootegeerera nga Katonda akusiize obeere omulangira ku busika bwe. |
| 2 |
| Bw'onoova we ndi olwa leero, ojja kusanga abasajja babiri okumpi n'ekiggya kya Rakeli e Zeluza ku nsalo ne Benyamiini. Bajja kukugamba nti: ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya, zaazuuse; naye kitaawo alekedde awo okulowooza ku ndogoyi, wabula yeeraliikirira mmwe; abuuza nti: “Nkole ki olw'omwana wange?” ’ |
| 3 |
| Bw'onoovaawo ne weyongerayo, bw'onootuuka ku muvule Tabori, abasajja basatu bajja kukusisinkana awo nga bambuka eri Omukama mu Beteli; omu ajja kubeera ng'atwala obubuzi busatu, omulala emigaati esatu egy'oluwewere, ate owookusatu ng'atwala endyanga y'evviini. |
| 4 |
| Bajja kukulamusa, bakuwe emigaati ebiri; gikkirize ogibaggyeko. |
| 5 |
| Ebyo nga biwedde, ojja kutuuka e Gibewa ekya Katonda, awali enkambi y'Abafilisitiini; bw'onooba oyingira mu kibuga, ojja kusisinkana abalanzi nga bakumba baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu, nga bakuba entongooli, obugoma, ennanga n'okufuuwa endere, era nga bwe balanga. |
| 6 |
| Omwoyo gw'Omukama gujja kukujjako n'amaanyi, naawe olange wamu nabo; ojja kufuuka muntu mulala. |
| 7 |
| Obubonero buno bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky'olaba ekyetaagibwa, kubanga Omukama ali naawe. |
| 8 |
| Nkulemberaamu oserengete e Gilugali. Nange nzija kuserengeta nkusange, mpeereze ebitone eby'ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu. Kyokka ojja kulindako ennaku musanvu, okutuusa lwe najja gy'oli nkulage ky'onookola.” |
| 9 |
| Sawulo bwe yakyuka agende, ave awali Samweli, omutima gwe Katonda n'agufuula mulala. Obubonero bwonna bwatuukirira ku olwo. |
| 10 |
| Bwe batuuka e Gibewa, abalanzi abakumba ne bamusisinkana; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako, n'abeegattako mu kulanga. |
| 11 |
| Abaali bamumanyi mu kusooka bwe baamulaba ng'ali n'abalanzi ate ng'alanga, ne bagambagana nti: “Kiki ekigudde ku mutabani wa Kisi? Ne Sawulo ye omu ku balanzi?” |
| 12 |
| Omusajja ow'omu kifo ekyo n'ayanukula nti: “Ate kitaabwe ye ani?” Okuva olwo yafuuka njogera nti: “Ne Sawulo ye omu ku balanzi?” |
| 13 |
| Bwe yalekera awo okulanga, n'ayambuka ku kifo ekigulumivu e Gibewa. |
| 14 |
| Kitaawe wa Sawulo omuto n'abuuza Sawulo n'omuweereza we nti: “Mwagenze wa?” Ne bamwanukula nti: “Kunoonya ndogoyi; bwe tutaazisanze, ne tugenda ewa Samweli.” |
| 15 |
| Kitaawe omuto n'amugamba nti: “Ntegeeza Samweli kye yakugambye.” |
| 16 |
| Sawulo n'agamba kitaawe omuto nti: “Yatukakasizza nti endogoyi zaazuuse.” Eby'obwakabaka, Samweli bye yali amugambye, teyabibuulira kitaawe omuto. |
| 17 |
| Samweli n'akuŋŋaanyiza abantu ba Yisirayeli eri Omukama e Mizupa, |
| 18 |
| n'agamba Abayisirayeli nti: “Kino ky'agamba Omukama Katonda wa Yisirayeli nti: ‘Naggya Yisirayeli mu Misiri, ne mbawonya mu mikono gy'Abamisiri, ne mu mikono gya bakabaka bonna abaababonyaabonyanga. |
| 19 |
| Naye kati mwemansudde Katonda wammwe oyo eyabanunula mu bubenje bwonna ne mu nnaku zammwe, ne mugamba nti: “Tewali! Ffe tuteerewo kabaka.” Kale nno muyimirire mu maaso g'Omukama, nga mugoberera ebika byammwe n'amasiga gammwe.’ ” |
| 20 |
| Samweli bwe yakuŋŋaanya ebika bya Yisirayeli byonna, ekika kya Benyamiini ne kirondebwamu. |
| 21 |
| Ekika kya Benyamiini bwe yakissa kyokka mu masiga gaabwe, essiga lya Bamaturi ne lirondebwamu; namwo ne mulondebwamu Sawulo mutabani wa Kisi. Ne bamumagamaga, n'abula. |
| 22 |
| Ne beebuuza ku Mukama nti: “Omusajja yazze wano?” Omukama n'abaanukula nti: “Wuuli yeekwese mu migugu.” |
| 23 |
| Ne badduka ne bamuggyayo. Bwe yayimirira mu bantu wakati, ng'asooloobye ku bantu bonna okuva ku kibegabega okudda waggulu. |
| 24 |
| Samweli n'agamba abantu bonna nti: “Mumulabye omusajja Omukama gw'alonze? Mu bantu bonna tewali amufaanana.” Abantu bonna ne baleekaana nti: “Kabaka awangaale!” |
| 25 |
| Samweli n'annyonnyola abantu etteeka ly'obwakabaka, n'aliwandiika mu kitabo n'akissa mu maaso g'Omukama; n'asiibula abantu bonna, buli omu n'adda ewuwe. |
| 26 |
| Ne Sawulo n'agenda ewaabwe mu Gibewa; yawerekerwako abasajja abatabaazi Katonda be yali akutteko ku mitima. |
| 27 |
| Naye abasajja endalagge ne bamugaya nga bagamba nti: “Oyo anaasobola okutununula?” Ne bamunyooma era tebaamuleetera na birabo, naye Sawulo teyanyega kantu. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/1samuel/010.mp3
31
10