Awo ababaka ne bajja e Gibea ekya Sawulo ne boogerera ebigambo ebyo mu matu g'abantu: awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga.
Awo n'addira ente bbiri n'azitematema n'aziweereza okubuna ensalo zonna eza Isiraeri mu mikono gy'ababaka ng'ayogera nti Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa. Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu.
Ne bagamba ababaka abajja nti Bwe mutyo bwe munaagamba abasajja ab'e Yabesugireyaadi nti Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi. Ababaka ne bajja ne babuulira abasajja ab'e Yabesi; ne basanyuka.
Awo olwatuuka enkya Sawulo n'ayawulamu abantu ebibiina bisatu; ne batuuka wakati mu lusiisira mu kisisimuka eky'enkya, ne bakuba Abamoni okutuusa omusana lwe gwakaza: awo olwatuuka abaasigalawo ne basaasaana okusigala ne watasigala babiri ku bo abaali awamu.
Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama e Girugaali; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo.