Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe: nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe: era natambulira mu maaso ganunwe okuva mu buto bwange ne leero.
Nze nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta: ani gwe nnanyagako ente ye? oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? ani gwe nnali njooze? oba ani gwe nnatoolako mu ngalo ze eaguzi okunzibya amaaso nange naabasasula.
N'abagamba nti Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero nga mmwe temulabye kintu mu mukono gwange. Ne boogera nti Ye mujulirwa.
Yakobo bwe yali atuuse mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni eyaggya bajjajjammwe mu Misiri n'abatuuza mu kifo muno.
Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abatunda mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo.
Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.
Awo bwe mwalaba nga Nakkasi kabaka w'abaana ba Amoni ng'abatabadde, ne muŋŋamba nti Nedda, naye kabaka ye alitufuga: Mukama Katonda wammwe nga ye kabaka wammwe.
Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne muwuliranga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kya Mukama, mmwe era ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe; kale:
Leero si ge makungula g'eŋŋaano? Naasaba Mukama aweereze okubwatuka n'enkuba: awo munaamanya ne mulaba ng'obubi bwammwe bunene bwe mwakola mu maaso ga Mukama nga mwesabira kabaka.
Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa: kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, okwesabira kabaka.