Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu; ku abo enkumi bbiri baabanga ne Sawulo e Mikumasi ne ku lusozi olw'e Beseri; n'olukumi baabanga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini: n'abantu abalala bonna n'abasindika buli muntu mu weema ye.
Yonasaani n'akuba ekigo eky'Abafirisuuti ekyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna ensi yonna, ng'ayogera nti Abaebbulaniya bawulire.
Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo.
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okulwana ne Isiraeri, amagaali obukumi busatu, n'abasajja abeebagala embalaasi kakaaga, n'abantu abaali ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi: ne bambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Besaveni.
Awo abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga bali bubi (kubanga abantu baali balabye ennaku,) awo abantu ne beekweka mu mpuku ne mu bisaka ne mu mayinja ne mu mpampagama ne mu bunnya.
Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi: naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana:
Samwiri n'ayogera nti Okoze ki? Sawulo n'ayogera nti Kubanga nalabye ng'abantu basaasaanye nga banvaako so naawe nga tojja mu biro ebyateekebwawo n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;
n'ekibiina ekirala ne badda mu kkubo erigenda e Besukolooni: n'ekibiina ekirala ne badda mu kkubo ery'ensalo w'oyima waggulu okutunuulira ekiwomvu Zeboyimu ku luuyi olw'eddungu.
Awo olwatuuka mu biro eby'entalo ne watalabika kitala newakubadde effumu mu mukono gw'omuntu yenna ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani: naye Sawulo ne Yonasaani mutabani we be baalina.