BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Samweli n'agamba Sawulo nti: “Omukama yantuma nze, nkusiige, obeere kabaka w'eggwanga lye Yisirayeli. Kale nno wulira Omukama ky'akugamba. |
| 2 |
| Omukama w'Amagye agamba bino. ‘Ŋŋenda kubonereza Amaleki olw'ebyo bye yakola Yisirayeli, bwe yamuteega mu kkubo lwe yali ayambuka ng'ava mu Misiri. |
| 3 |
| Kale nno, genda olumbe Amaleki osanyizeewo ddala ebibye byonna; tobaako ky'otaliza; wabula tta buli musajja n'omukazi, n'omwana, n'ebbujje, n'ente, endiga, eŋŋamiya, n'endogoyi.’ ” |
| 4 |
| Sawulo n'ayita abantu e Telayimu, n'abala abatabaazi ab'ebigere obusiriivu bubiri n'abasajja ab'omu Yuda omutwalo gumu. |
| 5 |
| Sawulo bwe yatuuka ku kibuga kya Amaleki, n'ateegera mu lukonko. |
| 6 |
| Sawulo n'agamba Abakeni nti: “Mugende, muve awali Abaamaleki, nneme kubazikiririza wamu nabo, kubanga mmwe mwagirira ekisa Abayisirayeli bonna lwe baali bayambuka nga bava mu Misiri.” Abakeni ne bava awali Amaleki. |
| 7 |
| Sawulo n'atta Amaleki okuva e Kavila okutuuka w'ogendera e Suru ekiri ebuvanjuba wa Misiri. |
| 8 |
| Yawamba Agagi kabaka w'Amaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n'abatta n'ekitala. |
| 9 |
| Sawulo n'eggye baataliza Agagi n'endiga, ente, obuyana obusavuwaze, n'obuliga ebisinga obulungi, kwe kugamba buli kirungi kyonna. Ebirungi tebaayagala kubizikiriza, naye buli ekinyoomebwa n'ekinafu baabisaanyaawo. |
| 10 |
| Ekigambo ky'Omukama ne kituuka ku Samweli nti: |
| 11 |
| “Nnyoleddwa okulaba nga nassaawo Sawulo abeere kabaka, kubanga anjabulidde, ne bye namugambye tabituukirizza.” Samweli n'anakuwala, n'alaajanira Omukama ekiro kyonna. |
| 12 |
| Samweli bwe yazuukuka ku makya, n'agenda okusisinkana Sawulo, naye Samweli ne bamubuulira nti: “Sawulo agenze ku Karumeli; eyo yeetereddeyo ekijjukizo, bw'akomyewo, ayise buyisi n'akkirira e Gilugali.” |
| 13 |
| Samweli bwe yatuuka awali Sawulo, Sawulo n'amugamba nti: “Omukama akuwe omukisa. Ntuukirizza Omukama bye yaŋŋambye.” |
| 14 |
| Samweli n'amugamba nti: “Ate okukaaba kw'endiga okuvuga mu matu gange, n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira, biki bino?” |
| 15 |
| Sawulo n'agamba nti: “Abantu be baabireese okuva mu Baamaleki; abantu baatalizza endiga n'ente ezisinga obulungi, balyoke babitambirire Omukama Katonda wo; naye ebirala twabisaanyizaawo ddala.” |
| 16 |
| Samweli n'agamba Sawulo nti: “Lindako, ka nkubuulire Omukama bye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n'amugamba nti: “Yogera.” |
| 17 |
| Samweli n'agamba nti: “Newandibadde nga bwe weetunuulira wali okyali mwana bwana, tewafuuka mutwe gwa bika bya Yisirayeli? Omukama yakusiiga n'oba kabaka wa Yisirayeli, |
| 18 |
| Omukama n'akutuma omulimu ng'agamba nti: ‘Genda, otte Amaleki, abo aboonoonyi; balwanyise okutuusa ng'obasaanyizzaawo ddala.’ |
| 19 |
| Kale lwaki tewawuliriza ddoboozi lya Mukama, ate ggwe n'odda ku munyago, n'okola ekibi mu maaso g'Omukama?” |
| 20 |
| Sawulo n'agamba Samweli nti: “Mu butuufu nawuliriza eddoboozi ly'Omukama. Nagenda Omukama gye yantuma; Agagi kabaka wa Amaleki namuleeta; Amaleki ne mmusaanyizaawo ddala. |
| 21 |
| Abantu be baalonze mu byanyagibwa endiga n'ente ebisinga obulungi, ebyali bisaliddwa okuzikirizibwa, balyoke babitambirire Omukama Katonda wo e Gilugali.” |
| 22 |
| Samweli n'agamba nti: “Omukama asanyukira ebitambiro ebyokye n'ebitone okwenkana bw'asanyukira okugondera eddoboozi ly'Omukama? Kituufu, obuwulize bukira ekitambiro, okutegereza kukira amasavu g'endiga ennume. |
| 23 |
| Obujeemu, kibi kya kulagulwa; olunkulu luli ng'obubi obuli mu kusinza balubaale. Kubanga wagaana ekiragiro ky'Omukama, naye akubodde ku bwakabaka.” |
| 24 |
| Sawulo n'agamba Samweli nti: “Nnyonoonye, kubanga nagaya ekiragiro ky'Omukama n'ebigambo byo. Natya abantu, ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe. |
| 25 |
| Kale nno nkwegayiridde, nsonyiwa ekibi kyange, tuddeyo ffembi, nsinze Omukama.” |
| 26 |
| Samweli n'agamba Sawulo nti: “Sijja kuddayo naawe, kubanga wagaana Omukama kye yayogera; n'Omukama akubodde okuba kabaka wa Yisirayeli.” |
| 27 |
| Samweli bwe yakyuka agende, Sawulo n'akwata omukugiro gw'omunagiro gwe, ne guyulika. |
| 28 |
| Samweli n'amugamba nti: “Olwa leero Omukama ayuzizza obwakabaka bwo ku Yisirayeli n'abuwa munno akusingako obulungi. |
| 29 |
| Anti ‘Oyo Ekitiibwa kya Yisirayeli’ talimba, takyusa birowoozo, kubanga ye si muntu nti akyusa ky'alowooza.” |
| 30 |
| Sawulo n'agamba nti: “Nayonoona; naye mpisa n'ekitiibwa mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Yisirayeli. Tuddeyo ffembi, nsinze Omukama Katonda wo.” |
| 31 |
| Samweli n'addayo ne Sawulo; Sawulo n'asinza Omukama. |
| 32 |
| Samweli n'agamba nti: “Mundeetere Agagi, kabaka wa Amaleki.” Agagi n'ajja gy'ali n'oluggumuggumu naye muli ng'alowooza nti: “Mazima obubalagaze bw'okufa buyise.” |
| 33 |
| Naye Samweli n'agamba nti: “Ng'ekitala kyo bwe kyamalako abakazi abaana, ne nnyoko mu bakazi banne bw'anaasigala nga talina baana!” Samweli n'atemaatema Agagi ebifi mu maaso g'Omukama mu Gilugali. |
| 34 |
| Samweli n'agenda mu Rama; ye Sawulo n'ayambuka mu nnyumba ye mu Gibewa ekya Sawulo. |
| 35 |
| Samweli teyaddayo kulaba ku Sawulo okutuusa okufa kwe; kyokka Samweli yakaabiranga Sawulo, naye Omukama n'anyolwa okuba nga yalonda Sawulo okuba kabaka wa Yisirayeli. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/1samuel/015.mp3
31
15