Awo Dawudi yali mwana wa Mwefulaasi oyo ow'e Besirekemuyuda, erinnya lye Yese; era yalina batabani be munaana: era omusajja yali mukadde ku mirembe gya Sawulo ng'akootakoota mu bantu.
Ne batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagoberedde Sawulo mu ntalo: ne batabani be abasatu abaagenda mu ntalo amannya gaabwe Eriyaabu omubereberye, n'eyamuddako Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma.
Awo Yese n'agamba Dawudi mutabani we nti Twalira nno baganda bo efa ey'eŋŋaano eno ensiike n'emigaati gino ekkumi, oyanguwe obitwale mu lusiisira eri baganda bo;
Abasajja ba Isiraeri ne boogera nti Mulabye omusajja oyo ayambuse? mazima okusoomoza Isiraeri kyavudde ayambuka: awo olunaatuuka omuntu anaamutta kabaka anaamugaggawaza n'obugagga bungi, era anaamuwa ne muwala we, era anaafuula ennyumba ya kitaawe okuba ey'eddembe mu Isiraeri.
Ne Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira bwe yayogera n'abasajja; obusungu ne bumukwata Eriyaabu eri Dawudi, n'ayogera nti Oserengetedde ki? n'endiga ezo entono wazirekera ani ku ttale? Mmanyi amalala go n'ekyejo ekiri mu mutima gwo, kubanga oserengese okulaba olutalo.
Sawulo n'agamba Dawudi nti Toyinza kusisinkana na Mufirisuuti oyo okulwana naye: kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe;
ne nfulumanga ne ngigoberera ne ngikuba ne ngiwonya nga ngiggya mu kamwa kaayo: awo bwe yangolokokerangako ne ngikwata ku kirevu kyayo ne ngikuba ne ngitta.
Dawudi n'ayogera nti Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alunponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo. Sawulo n'agamba Dawudi nti Genda, era Mukama anaaba naawe.
N'addira omuggo gwe mu mukono gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n'agateeka mu nsawo ey'omusumba gye yalina, mu ndyanga ye; n'envuumuulo ye yali mu mukono gwe: n'asemberera Omufirisuuti.
Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkuggyako omutwe gwo; era naagabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri:
Awo Dawudi n'ayingiza engalo ze mu nsawo ye n'aggyamu ejjinja n'alivuumuula n'akuba Omufirisuuti ekyenyi; ejjinja ne liiyingira mu kyenyi kye, n'agwa nga yevuunise.
Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne boogerera waggulu ne bagoberera Abafirisuuti okutuusa lw'otuuka e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni. N'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni.
Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'agamba Abuneeri, omukulu w'eggye, nti Abuneeri, omulenzi ono ye mwana w'ani? Abuneeri n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, ai kabaka, simanyi.