Yonasaani n'abuulira Dawudi ng'ayogera nti Sawulo kitange ayagala okukutta: kale nno kaakano, nkwegayiridde, weekuume enkya obeere mu kifo eky'ekyama weekise:
nange naafuluma ne nnyimirira ku mabbali ga kitange mu nnimiro mw'oli, era naateesa ne kitange ebigambo byo; era bwe ndiraba ekigambo kyonna, ndikubuulira.
Sawulo n'agamba Mikali nti Onnimbidde ki bw'otyo, n'ota omulabe wange agende n'okuwona awonye? Mikali n'addamu Sawulo nti Yaŋŋambye nti Ka ŋŋende; nandikuttidde ki?
Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi: awo bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga balagula ne Samwiri ng'ayimiridde nga gwe mutwe gwabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, ne balagula nabo.
Awo naye n'agenda e Laama, n'ajja awali oluzzi olunene oluli e Seku: n'abuuza n'ayogera nti Bali ludda wa Samwiri ne Dawudi? Ne waba eyayogera nti Laba, bali e Nayosi mu Laama.
Era naye ne yeeyambulamu engoye ze, naye n'alagulira mu maaso ga Samwiri n'agalamira nga taliiko ky'ayambadde n'azibya obudde obwo n'akeesa obudde. Kyebava boogera nti Ne Sawulo ali mu bannabbi?