Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne banyaga ente zaabwe, ne babatta olutta olunene. Awo Dawudi n'alokola abaatuula e Keyira.
Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti Katonda amugabudde mu mukono gwange: kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba.
Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo. Mukama n'ayogera nti Aliserengeta.
Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga ne bagolokoka ne bagenda okuva mu Keyira ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Ne babuulira Sawulo Dawudi ng'awonye okuva mu Keyira: n'alekayo okutabaala.
Awo Dawudi n'atuula mu ddungu mu bigo, n'abeera mu nsi ey'ensozi mu ddungu ery'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atamugabula mu mukono gwe.
Awo ab'e Zifu ne bambuka ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera nti Dawudi teyeekweka ewaffe mu bigo mu kibira ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'eddungu?
Kale mulabe, muzige ebifo byonna mw'ateegera mwe yeekweka, mukomewo gye ndi so temulema kujja, nange ndigenda nammwe: awo olulituuka, oba ng'ali mu nsi, ndimunoonya ne mmulaba mu nkumi zonna eza Yuda.
Awo ne bagolokoka ne bagenda e Zifu okukulembera Sawulo: naye Dawudi n'abasajja be baali mu ddungu ery'e Mawoni, mu Alaba ku luuyi olw'eddungu olw'obukiika obwa ddyo.
Sawulo n'abasajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi; kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ery'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'agoberera Dawudi mu ddungu ery'e Mawoni.
Sawulo n'agenda ku mabbali g'olusozi eruuyi, ne Dawudi n'abasajja be ku mabbali g'olusozi eruuyi: Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okutya Sawulo; kubanga Sawulo n'abasajja be baazingiza Dawudi n'abasajja be enjuyi zonna okubakwata.