Dawudi n'agolokoka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde: Dawudi n'alaba ekifo Sawulo we yagalamira, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lye: era Sawulo yali agalamidde munda w'ekifo eky'amagaali, abantu ne basiisira okumwetooloola.
Awo Dawudi n'addamu n'agamba Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, ng'ayogera nti Ani anaaserengeta nange n'agenda eri Sawulo mu lusiisira? Abisaayi n'ayogera nti Nze naaserengeta naawe.
Awo Dawudi ne Abisaayi ne bajja eri abantu ekiro: awo, laba, Sawulo ng'agalamidde nga yeebase munda w'ekifo eky'amagaali, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka ku mutwe gwe: ne Abuneeri n'abantu nga bagalamidde okumwetooloola.
Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya ku mutwe gwa Sawulo; ne beddirayo so nga tewali muntu akirabye newakubadde akimanyi, so nga tewali azuukuse: kubanga bonna nga beebase; kubanga otulo tungi otwava eri Mukama twali tubaguddeko.
Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'ayogera nti Toddamu, Abuneeri? Awo Abuneeri n'addamu n’ayogera nti Ggwe ani akoowoola kabaka?
Dawudi n'agamba Abuneeri nti Toli muzira? era ani akwenkana mu Isiraeri? kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? kubanga muyingidde omu ku bantu okuzikiriza kabaka mukama wo.
Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama oba nga ye yakumpeerera, akkirize ekiweebwayo: naye oba nga be baana b'abantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga bangobye leero nneme okwegatta n'obusika bwa Mukama nga boogera nti Genda oweereze bakatonda abalala.