Dawudi n'atuula ne Akisi e Gaasi, ye n'abasajja be, buli muntu n'ab'omu nnyumba, Dawudi ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, mukazi wa Nabali
Awo Dawudi n'agamba Akisi nti Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo: kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga kyennyini awamu naawe?
Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki: kubanga abo be baatuulanga mu nsi, abaabangamu edda, ng'ogenda e Ssuuli, okugenda mu nsi ey'e Misiri.
Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, ng'ayogera nti Baleme okutuloopa nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bwe yakola, era bwe yayisanga bw'atyo kasookedde atuula mu nsi ey'Abafirisuuti.