Dawudi n’abasajja be ne basenga mu Gaasi ewa Akisi, buli musajja ne nnyumba ye yonna, ne Dawudi n’abakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, nnamwandu wa Nabali.
Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri.
Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ng’empisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi ey’Abafirisuuti.