Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali aggye mu nsi abo abaaliko emizimu n'abafumu.
Awo Sawulo n'alyoka agamba abaddu be nti Munnoonyeze omukazi aliko omuzimu ŋŋende gy'ali mubuuze. Abaddu be ne bamugamba nti Laba, waliwo omukazi aliko omuzimu e Endoli.
N'amugamba nti Embala ye eri etya? N'ayogera nti Omukadde ayambuka; era yeenagiddeko omunagiro. Sawulo n'ategeera nga Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Lwaki okungolokosa okunninnyisa? Sawulo n'addamu nti Neeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto: kyenvudde nkuyita ontegeeze bye mba nkola.
Era nate Mukama anaagabula ne Isiraeri wamu naawe mu mukobo gw'Abafirisuuti: era enkya ggwe ne batabani bo banaaba nange: Mukama anaagabula n'eggye lya Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.
Omukazi n'ajja eri Sawulo, n'alaba nga yeeraliikiridde nnyo, n'amugamba nti Laba, omuzaana wo awulidde eddoboozi lyo ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange ne mpulira ebigambo byo by'oŋŋambye.