×

Luganda Bible 2003

1 Samwiri 5

1
Abafilistiya bwe baanyaga Essanduuko ya Katonda, ne bagiggya mu Ebenezeri, ne bagitwala e Asudoodi.
2
Ne bagitwala ne bagiteeka mu ssabo lya lubaale waabwe Dagoni, ne bagiteeka ku mabbali ge.
3
Abasudoodi bwe baagolokoka enkeera ku makya, baasanga Dagoni agudde, nga yeevuunise mu maaso g'Essanduuko ya Mukama. Dagoni ne bamusitula ne bamuzza mu kifo kye.
4
Ate bwe baagolokoka mu makya g'olunaku olwaddirira, era ne basanga Dagoni ng'agudde, era nga yeevuunise mu maaso g'Essanduuko ya Mukama, omutwe n'emikono nga bikutuseeko, nga bigudde mu mulyango, Dagoni ng'asigadde kiwuduwudu.
5
Bakabona ba Dagoni, ne bonna abayingira mu ssabo lye, kyebava balema okulinnya ku mulyango gwe mu Asudoodi, n'okutuusa kati.
6
Awo Mukama n'abonereza nnyo abantu b'omu Asudoodi n'ebitundu ebikyetoolodde, n'abaleetera entiisa, n'abalwaza ebizimba.
7
Abasudoodi bwe baalaba ebibatuuseeko, ne bagamba nti: “Essanduuko ya Katonda w'Abayisirayeli tetujja kusigala nayo, kubanga Katonda waabwe atubonerezza nnyo ffe ne lubaale waffe Dagoni.”
8
Kyebaava batuma ababaka ne bayita abaami b'Abafilistiya bonna, ne bababuuza nti: “Tukole tutya Essanduuko ya Katonda w'Abayisirayeli?” Ne baddamu nti: “Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli ewereekerezebwe okutuuka e Gaati.” Awo ne bawereekereza Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli.
9
Awo olwatuuka bwe baagituusaayo, Mukama n'abonereza n'ab'omu kibuga ekyo, n'abaleetera entiisa ey'amaanyi era n'abalwaza ebizimba, ebyafuutuuka ku bonna, abato n'abakulu.
10
Awo Essanduuko ya Katonda ne bagiweereza mu Ekurooni. Bwe baagituusa eyo, ab'omu Ekurooni ne baleekaana nti: “Batuleetedde Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli okututta ffenna!”
11
Ne batumira abaami bonna ab'Abafilistiya ne bakuŋŋaana. Ne babagamba nti: “Muzzeeyo Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli gy'ebeera, ereme kututta kutumalawo.” Waaliwo entiisa ey'okufa mu kibuga kyonna, kubanga Katonda yali ababonerezza nnyo.
12
N'abo abataafa, ne balwala ebizimba, okukaaba kw'ab'omu kibuga ekyo ne kutuuka mu ggulu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes