Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abafumu, nga boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Mukama? tutegeeze bwe tuba tugiweereza okugenda mu kifo kyayo.
Ne boogera nti Bwe munaasindika essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okugenda, temugisindika njereere; naye temulema kumuweereza ekiweebwayo olw'omusango: ne mulyoka muwona, era kiritegeerwa mmwe ekirobera okubaggyako omukono gwe.
Kyemunaava mwekolera ebifaananyi by'ebizimba byammwe n'ebifaananyi by'emisonso gyammwe egyonoona ensi; era muliwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri: mpozzi aliggya omukono gwe ku mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe.
Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe? bwe yamala okukola mu bo eby'ekitalo, tebakkiriza bantu kugenda ne bagenda?
Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi, zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo eye Besusemesi.
Eggaali n'ejja mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene: ne baasa emiti egy'eggaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n'ebbweta eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene: Ababesusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama.
N'atta ku Babesusemesi, kubanga baali balingizizza mu ssanduuko ya Mukama, n'atta ye ku bantu abasajja obukumi butaano mu nsanvu: abantu ne banakuwala, kubanga Mukama yatta abantu olutta olunene.
Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; muserengete mmwe, mugikime erinnye gye muli.