Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama.
Awo olwatuuka okuva ku lunaku essanduuko bwe yabeera mu Kiriyasuyalimu, ne wabaawo ekiseera kinene; kubanga gyali emyaka abiri n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne banoonya Mukama nga banakuwala.
Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abagenyi ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka: naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.
Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagafuka mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti Twasobya ku Mukama. Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri e Mizupa.
Awo Abafirisuuti bwe baawulira ng'abaana ba Isiraeri bakuŋŋanidde e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ne batabaala Isiraeri. N'abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti.
Awo Samwiri ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri: naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti n'abakeŋŋentereza; ne bameggebwa wansi mu maaso ga Isiraeri.
N'ebibuga Abafirisuuti bye baali baggye ku Isiraeri ne bizzibwa eri Isiraeri okuva ku Ekuloni okutuusa ku Gaasi; n’ensalo yaabyo Isiraeri n’agiggya mu mukono gw'Abafirisuuti. Ne Isiraeri n'Abamoli ne baba n'emirembe.