|
| 1 |
|
| Samwiri bwe yakaddiwa, n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. |
|
| 2 |
|
| Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, n’owokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. |
|
| 3 |
|
| Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya. |
|
| 4 |
|
| Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, |
|
| 5 |
|
| ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.” |
|
| 6 |
|
| Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri Mukama. |
|
| 7 |
|
| Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe. |
|
| 8 |
|
| Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa. |
|
| 9 |
|
| Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga by’alibakola.” |
|
| 10 |
|
| Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna Mukama bye yamugamba. |
|
| 11 |
|
| N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge. |
|
| 12 |
|
| Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge. |
|
| 13 |
|
| Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati. |
|
| 14 |
|
| Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be. |
|
| 15 |
|
| Alitwala ekimu eky’ekkumi eky’emmere yammwe ey’empeke, n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, n’akigabira abakungu be n’abaweereza be. |
|
| 16 |
|
| Alitwala abaweereza bammwe abasajja n’abaweereza bammwe abakazi, n’abavubuka bammwe abasinga obulungi n’endogoyi, n’abyeddiza. |
|
| 17 |
|
| Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be. |
|
| 18 |
|
| Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye Mukama talibafaako ku lunaku olwo.” |
|
| 19 |
|
| Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, |
|
| 20 |
|
| naffe tubeere ng’amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera n’atulwanira entalo zaffe.” |
|
| 21 |
|
| Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna eby’abantu, n’abiddiramu Mukama. |
|
| 22 |
|
| Mukama n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.” Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.” |
|
|
|
|