Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afia omwana w'Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira.
Awo endogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n'agamba Sawulo mutabani we nti Twala omu ku baddu agende naawe ogolokoke ogende onoonye endogoyi.
Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n’ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba: awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo: n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba.
Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti Tugende tuddeyo; kitange aleme okuleka okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ffe.
Ne babaddamu ne boogera nti Waali; laba, ali mu maaso go: yanguwa nno, kubanga atuuse mu kibuga leero; kubanga abantu balina ssaddaaka leero mu kifo ekigulumivu:
bwe munaaba nga mutuuse mu kibuga, munaamulaba mangu ago, nga tannaba kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya: kubanga abantu tebaalye nga tannajja, kubanga ye asabira ssaddaaka omukisa; awo abaayitibwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke; kubanga kaakano lwe munaamulaba.
Enkya nga mu kiseera kino nnaawereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri, era ye alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti: kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.
Sawulo n'addamu n'ayogera nti Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? n'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo?
Omufumbiro n'asitula ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'ayogera nti Laba ekyo ekiterekeddwa! kiteeke mu maaso go olye; kubanga kikuterekeddwa okutuusa ku biro ebyateekebwawo, kubanga nayogera nti Mpise abantu. Awo Sawulo n'alya ne Samwiri ku lunaku olwo.
Ne bagolokoka mu makya: awo olwatuuka obudde nga bukya, Samwiri n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba ng'ayogera nti Golokoka, nkusindike ogende. Sawulo n'agolokoka ne bafuluma bombi, ye ne Samwiri.