2. “Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo, ye wange.”
3. Musa n'agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yabaggya mu kifo ekyo; tebalyanga ku migaati egizimbulukusibbwa.
4. Ku lunaku luno, mu mwezi ogwa Abibu lwe munaavaamu.
5. Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.
6. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukusiddwa, era ku lunaku olw'omusanvu; wanaabanga embaga eri Mukama.
7. Emigaati egitazimbulukusiddwa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukusibbwa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna.
8. Era onoomugambanga omwana wo ku lunaku luli nti, ‘kino nkikola olw'ebyo mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.’
9. Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo mu kyenyi kyo, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yakuggya mu Misiri.
11. “Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa,
12. onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama.
13. Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onooginyoolanga ensingo; era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga.
14. Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti, ‘Kiki kino?’ Onoomugambanga nti, ‘Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.
18. Naye Katonda neyeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu; abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina eby'okulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.
19. Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye; kubanga yabalayiriza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti, “Katonda talirema kubalabikira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.”
20. Ne bava mu Sukkosi nga batambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu.
21. Mukama n'abakulembera emisana mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, era n'ekiro mu mpagi ey'omuliro okubaakira; balyoke batambule emisana n'ekiro;
2. “Bagambe abaana ba Isiraeri badde emabega basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni; emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja.
3. Falaawo aliboogerako abaana ba Isiraeri nti, ‘Bazingiziddwa mu nsi, eddungu libasibye.’
4. Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera emabega waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama.” Bwe batyo bwe baakola.
5. Ne bagamba kabaka w'e Misiri nti abantu badduse; omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?”
6. N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye;
7. n'atwala amagaali lukaaga (600) amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna.
8. Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, kabaka w'e Misiri, n'agoberera abaana ba Isiraeri; kubanga abaana ba Isiraeri baafuluma n'okwewaana.
9. Abamisiri ne babagoberera emabega, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni.
10. Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera emabega waabwe; ne batya nnyo. Abaana ba Isiraeri ne bakaabirira Mukama.
11. Ne bagamba Musa nti, “Kubanga tewali ntaana mu Misiri kyovudde otuleeta tufiire mu ddungu? Kiki ekikutukozezza bw'oti, okutuggya mu Misiri?
12. Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti, ‘Tuleke tuweereze Abamisiri?’ Kubanga kirungi okuweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.”
15. Mukama n'agamba Musa nti, “Kiki ekikunkaabiriza? Bagambe abaana ba Isiraeri bagende mu maaso.
16. Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu; n'abaana ba Isiraeri banaayita wakati mu nnyanja nga ku lukalu.
17. Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.
18. Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.”
20. n'ejja n'ebeera wakati w'eggye ly'e Misiri n'eggye lya Isiraeri; ne waba ekire n'ekizikiza, naye n'ereeta omusana ekiro, abo ne batabasemberera bali ekiro kyonna.
21. Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.
22. Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu, amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
23. Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira emabega waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abantu be abeebagala.
24. Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri.
25. N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa; Abamisiri ne boogera nti, “Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.”
26. Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.”
27. Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.
28. Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja emabega waabwe; tewaasigala n'omu ku bo.
29. Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono.
30. Bw'atyo Mukama n'alokola Isiraeri ku lunaku olwo, mu mukono gw'Abamisiri; Isiraeri ne balaba Abamisiri nga bafudde ku mabbali g'ennyanja.
31. Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne batya Mukama; ne bamukkiriza Mukama, n'omuddu we Musa.
13. Mukama n'abwatuka mu ggulu, Eddoboozi ly'oyo ali waggulu ennyo ne liwulirwa, Ne wabaawo amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
14. N'alasa obusaale bwe, abalabe be n'abasaasaanya. N'abagoba n'okumyansa okungi.
15. Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne girabika, Mu kunenya kwo, ayi Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo.
16. Mukama yasinziira mu ggulu, n'ankwata, N'anzigya mu mazzi amangi.
1. Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baasembera okumpi ne Yerusaalemi, ne batuuka e Besufaage, ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri (2),
2. n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi esibiddwa, nga eri n'omwana gwayo; muzisumulule, muzindeetere.
4. Kino kyabaawo, ekigambo kituukirire nnabbi kye yayogera, ng'agamba nti,
5. “Mubuulire muwala wa Sayuuni nti, Laba, Kabaka wo ajja gy'oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, Era yeebagadde n'akayana omwana gw'endogoyi.”
6. Abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira,
7. ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bazissaako engoye zaabwe; Yesu n'azituulako.
8. Abantu bangi ab'omu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne batema amatabi ku miti, ne bagaaliira mu kkubo.
9. Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava emabega, ne byogerera waggulu, ne bigamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi! Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama! Ozaana waggulu mu ggulu!”
10. Awo bwe yayingira mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna ne kikankanyizibwa nga abakirimu babuuza nti, “Ani ono?”
11. Ebibiina ne bigamba nti, “Ono ye nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya.”
12. Yesu n'ayingira mu Yeekaalu ya Katonda, n'agobera ebweru bonna abaali batundira mu Yeekaalu, n'avuunika embaawo ez'abaali bawaanyisa effeeza, n'entebe ez'abaali batunda enjiibwa;
13. n'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu;’ naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.”
14. Awo abazibe b'amaaso n'abalema ne bajja gy'ali mu Yeekaalu, n'abawonya.
15. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba eby'amagero bye yakola, n'abaana abaayogerera waggulu mu Yeekaalu nga bagamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi;” ne banyiiga,
17. N'abaleka, n'afuluma mu kibuga, n'agenda e Bessaniya, n'asula eyo.
18. Awo enkeera ku makya, Yesu bwe yali ng'addayo mu kibuga, enjala n'emuluma.
19. N'alaba omutiini gumu ku mabbali g'ekkubo, n'agutuukako, n'asanga nga tekuli kintu, wabula amalagala ameereere; n'agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala emirembe n'emirembe.” Amangwago omutiini ne guwotoka.
20. Abayigirizwa bwe baalaba, ne beewuunya, ne bagamba nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”
21. Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa.
22. Ne byonna byonna bye munaayagalanga, bwe munaasabanga nga mukkirizza, munaabiweebwanga.”