15. Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo Ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama; buli anaakoleranga emirimu gyonna ku Ssabbiiti, talemanga kuttibwa.
16. Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata Ssabbiiti, okwekuumanga Ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo.
17. Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna; kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.’ ”
18. Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda.
1. Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti, “Golokoka, otukolere katonda anaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.”
3. Abantu bonna ne baggyako empeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni.
4. N'azitoola mu ngalo zaabwe, n'aziwumba n'ekyuma ekisala, n'azisanuusa, n'azikolamu ennyana; ne boogera nti, “Ono ye katonda wo, ggwe Isiraeri, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.”
5. Alooni bwe yalaba bw'atyo, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti, “Enkya wanaabeera embaga ya Mukama.”
6. Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka ne bakola ebitasaana.
7. Mukama n'agamba Musa nti, “Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza;
8. bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”
9. Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye nga ba nsingo nkakanyavu;
10. kale kaakano ndeka, obusungu bwange bubuubuukire ku bo, era mbazikirize; era ndikufuula ggwe eggwanga eddene.”
11. Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti, “Mukama kiki ekibuubuusizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi, n'omukono ogw'obuyinza?
12. Lwaki owa Abamisiri omwaganya okwogera nti, Yabajja mu Misiri ng'agenderedde okubattira ku nsozi abasaanyizeewo ddala? Leka obusungu bwo obukambwe, okyuse oleme okubonereza abantu bo.
23. Kubanga baŋŋamba nti, ‘Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.’
24. Ne mbagamba nti, ‘Buli alina zaabu yonna yonna, agyeggyeko;’ awo ne bagimpa, ne ngiteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.”
25. Musa nnalaba abantu nga bajagaladde; kubanga Alooni yabaleka okujagalala, kye kyabatuusa ku kusekererwa abalabe baabwe;
26. Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti, “Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi.” Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali.
27. N'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Buli muntu akwate ekitala kye, ayiteeyite mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, atte mugandawe, muntu munne, ne muliraanwa we.’ ”
28. Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ku lunaku olwo abantu ne bafa ng'enkumi ssatu (3,000).
29. Musa n'ayogera nti, “Mwetukuzza eri Mukama, kuba buli omu ku mmwe akkirizza okutta omwana we ne mugandawe, Mukama alyoke akuwe omukisa leero.”
30. Awo bwe bwakya enkya, Musa n'agamba abantu nti, “Mwayonoonye ekyonoono ekinene; ne kaakano nnaalinnya eri Mukama; mpozzi n'akola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.”
31. Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti, “Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera katonda owa zaabu.
33. Mukama n'agamba Musa nti, “Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange.
34. Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako; laba, malayika wange anaakukulemberanga; era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.”
43. nnali mugenyi, temwansuza, nnali bwereere, temwannyambaza, mulwadde, ne mu kkomera, temwannambula.’
44. Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu kkomera, ne tutakuyamba?’
45. Awo alibaddamu, ng'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakikolera omu ku abo abasinga obuto, temwakikolera nze.’
46. Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”