1. Mukama n'agamba Musa nti, “Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo;’
2. era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi;
3. mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; kubanga nze siririnnya wakati mu mmwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu, nneme okukuzikiririza mu kkubo.”
4. Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala; ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo.
5. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza; kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.’ ”
6. Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo.
7. Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira.
8. Era Musa bwe yafulumanga n'agenda mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema.
9. Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema, Mukama n'ayogera ne Musa.
10. Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema, abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye.
11. Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate; naye omuweereza we Yoswa, omwana wa Nuuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.
12. Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, ondagira nti, ‘Twala abantu bano;’ n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti, ‘Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.’
13. Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nnalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.”
14. N'ayogera nti, “Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.”
16. Bw'otoligenda naffe abantu balimanyira ku ki nti nze n'abantu bo twalaba ekisa mu maaso go? Bw'onoogenda naffe ekyo kye kiritwawula, nze n'abantu bo ku bantu abalala bonna abali ku nsi.”
17. Mukama n'agamba Musa nti, “Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola; kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya.”
22. awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaabanga kiyita, nnaakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo;
23. ne nzigyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange; naye amaaso gange tegaalabike.”
1. Mukama n'agamba Musa nti, “Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya.
2. Era enkya weeteeketeeke olinnye ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko yaalwo.
3. So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.”
4. N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya ku makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja.
15. tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne bawa bakatonda baabwe ssaddaaka, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;
16. Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza bakatonda baabwe.”
17. “Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse.
18. Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu; kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri.
19. Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga.
20. N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga; era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga ensingo yaayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu.
21. “Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga; mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga.
22. Era mukuumanga embaga ey'Amakungula, bwe mutandikanga okukungula ebibala byammwe ebisooka eby'eŋŋaano, era mukuumanga embaga ey'ensiisira, nga mutereka ebibala byammwe, ku nkomerero y'amakungula.
23. Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri.
24. Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo; so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.
26. Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.”
27. Mukama n'agamba Musa nti, “Ggwe wandiika ebigambo ebyo; kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.”
28. N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi (10).
29. Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo ze; Musa n'atamanya ng'obwenyi bwe bumasamasa olw'okwogera ne Katonda.
30. Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, obwenyi bwe nga bumasamasa; ne batya okumusemberera.
31. Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali; Musa n'ayogera nabo.
32. Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera; n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi.
33. Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge.
34. Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri nga bwe yalagirwanga;
35. abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, obwenyi bwe nga bumasamasa; Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.
8. Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.
9. Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya.
10. Abaana baabwe olibazikiriza ku nsi, N'obamalirawo ddala mu baana b'abantu.
11. Ne bwe baliteesa okumukolako akabi, Ne bwe balisala enkwe, tebalisobola,
12. Kubanga olibafummuula, Olibaleegamu obusaale mu maaso, Ne bakyuka ne badduka.
17. Awo ku lunaku olusooka olw'Embaga eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'on'okuliira?”
18. Yesu n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.’ ”
19. Abayigirizwa be ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako.