2. Zino ze nsi ezikyasigaddeyo: ensi yonna ey'Abafirisuuti n'Abagesuli;
3. okuva ku mugga Sikoli, oguli ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo n'Ekuloni mu bukiikakkono, ebalibwa okuba ey'Abakanani era efugibwa abaami abataano (5) ab'Abafirisuuti; Abe Gaza, abe Asudodi, abe Abasukuloni, abe Gitti, n'Abekuloni;
4. era n'Abavi, ku luuyi olw'obukiikaddyo; eyo y'ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala eky'Abasidoni, okutuukira ddala ku Afiki, ku nsalo n'Abamoli;
5. n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi ekiri wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi,
6. Abantu bonna abali mu nsi ey'ensozi okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be ba Sidoni bonna; ndibagoba ng'abaana ba Isiraeri balaba; kyokka ensi yabwe ogigabire abaana ba Isiraeri okuba obutaka, nga bwe nnakulagira.
7. Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.”
9. Ekitundu ekyo kiva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuukira ddala ku Diboni;
10. n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo, ey'abaana ba Amoni;
11. ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka;
12. Obwo bwe bwali obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafugira mu Asutaloosi ne mu Ederei eyali omu ku Balefa abaasigalawo. Abo bonna Musa yabawangula, nabasanyaawo.
13. Naye abaana ba Isiraeri tebaagobamu Bagesuli n'Abamaakasi; n'okutuusa kati bakyali mu Isiraeri.
14. Ekika ekya Leevi kyokka Musa kyataawa butaka; bo baweebwa ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eri Mukama Katonda wa Isiraeri, okuba omugabo gwabwe nga Mukama bwe yalagira Musa.
15. Buno bwe butaka Musa bweyawa ekika kya Lewubeeni.
16. Ensalo yaabwe eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba;
17. Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni:
18. ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi;
19. ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu;
20. ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi;
21. n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga e Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n'abaami ab'e: Midiyaani, Evi, Lekemu, Zuuli, Kuli, ne Leba.
22. Mu abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala mwe mwali ne Balamu omulaguzi mutabani wa Byoli.
25. Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;
26. era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri;
27. ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
31. kyatwaliramu ekitundu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, n'ebibuga byonna eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, ebyali eby'abaana ba Makiri mutabani wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.
32. Bw'atyo Musa bwe yagabanyaamu ekitundu ekiri ebuvanjuba bwa Yeriko ne Yoludaani, mu nsenyi za Mowaabu.
33. Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa butaka; Mukama, Katonda wa Isiraeri, gwe mugabo gwabwe, nga Mukama weyalagira Musa.
1. Buno bwe butaka; Eriyazaali kabona, Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'abakulu be bika; bwe bagabira abaana ba Isiraeri mu nsi ya Kanani,
2. Obutaka buno bwagabirwa ebika omwenda n'ekitundu nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa.
3. Musa yali amaze okugabira ebika ebibiri n'ekitundu obutaka bwabyo obuvanjuba bwa Yoludaani; naye Abaleevi bo teyabagabira butaka.
4. Bo abaana ba Yusufu bavaamu ebika bibiri, ekya Manase ne Efulayimu; Abaleevi bo tebaweebwa butaka wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.
5. Abaana ba Isiraeri bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.
6. Lumu ab'omu kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa e Girugaali. Kalebu omu kubo mutabani wa Yefune Omukenizi, n'agamba Yoswa nti, “ Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa omuddu wa Katonda mu Kadesubanea ekikwata ku nze naawe.
7. Nali mpeza emyaka ana (40). Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; naamuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe byali ku mutima gwange.
9. Ku lunaku olwo Musa nandayirira nga agamba nti, ‘nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange kyayagala, ekitundu ky'ensi kyolinyemu ekigere kyo kye kiriba obutaka bwo gwe n'abaana bo emirembe gyonna.’
10. Era kaakano, giweze emyaka ana mu etaano (45), kasookedde Mukama agamba Musa ebigambo ebyo. Mu biseera ebyo Isiraeri yali ekyatambulira mu ddungu. Era Mukama ankumye nga ndi mulamu nga bweyasuubiza, kati mpezeza emyaka kinaana mu etaano (85).
11. Era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako, nkyasobola okulwana oba okukola ekintu ekirala kyonna.
12. Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki bwe baali mu bibuga ebinene ebiriko ebigo, osanga Mukama anaabeera nange, ne mbagobamu, nga Mukama bwe yayogera.”
13. Awo Yoswa n'asabira Kalebu omwana wa Yefune omukisa n'amuwa Kebbulooni okuba obutaka bwe.
14. Okuva olwo Kebbulooni ne kibeera ekya Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi, okutuusa ne kaakano, kubanga Kalebu yagoberera ddala Mukama, Katonda wa Isiraeri.
15. Edda Kebbulooni kyayitibwanga Kiriasualaba, Aluba oyo ye yali asinga obukulu mu ba Anaki. Awo ensi n'ewummula entalo.
20. Singa twerabidde erinnya lya Katonda waffe, oba okugolola emikono eri katonda omulala,
1. Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ali mu kifo ekimu ng'asaba, bwe yamala okusaba, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “ Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be.”
23. Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.”
24. “Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Kanzireyo mu nnyumba yange mwe nnava.
25. Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa.
26. Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.”
27. Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti, “ Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako.”
28. Naye ye n'agamba nti, “ Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.”