3. Naye mu ggwe mukyalimu ebirungi: kubanga waggyawo ebifaananyi bya Asera mu nsi yo, n'omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”
4. Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi. N'addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi y'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
8. Mu Yerusaalemi Yekosafaati y'eteekamu Abaleevi ne bakabona n'abamu bakulu b'ennyumba mu Isiraeri, okulamulanga ku bwa Mukama. Babeeranga mu Yerusaalemi.
9. Awo n'abakuutira ng'agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama n'obwesigwa era n'omutima gumu.
10. Baganda bammwe abali mu bibuga byabwe, bwe banaaleetanga gye muli emisango oba gy'abutemu oba gy'akumenya mateeka oba biragiro oba kusobya ebibalagirwa, mubalabulenga, baleme okunyiiza Mukama, sikulwa nga abasunguwalira mmwe ne baganda bammwe abo. Mukolenga bwe mutyo, muleme kubaako musango.”
11. Era, Amaliya kabona omukulu yanavunaanyizibwanga ku nsonga zonna eza Mukama, Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu mu kika kya Yuda yanavunaanyizibwanga ensonga zonna eza kabaka, n'Abaleevi banaaweerezanga nammwe. Mukole n'obuvumu era Mukama abeere n'abo abakola ebituufu.
1. Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n'Abamoni nga bali wamu n'abamu ku Bamewuni, ne balumba Yekosafaati okulwana naye.
2. Abasajja abamu ne bagenda ne bagamba Yekosafaati nti, “ Eggye ddene eriva emitala w'ennyanja e Busuuli likulumbye, era lituuse e Kazazomutamali, ye Enedi.”
3. Yekosafaati n'atya, n'amalira okwebuuza ku Mukama, n'alangirira okusiiba mu Yuda yonna.
4. Yuda yenna ne bakungaana okusaba Mukama abayambe. baaviira ddala mu bibuga byonna ebya Yuda okwegayirira Mukama.
5. Awo Yekosafaati n'ayimirira mu maaso g'ekkungaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya,
6. n'agamba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow'omu ggulu? Si ggwe afuga obwakabaka bwonna mu nsi? Olina obuyinza n'amaanyi, tewali ayinza okukuziyiza.
7. Ayi Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
8. Ne babeera omwo, era bakuzimbidde Yeekaalu okukusinzizangamu, nga bagamba nti,
9. ‘Obubi bwe bunaatutuukangako, n'olutalo oba musango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.’
10. Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okulumba bwe bali baava mu nsi y'e Misiri, naye ne baabeebalama ne batabazikiriza.
13. Abasajja bonna aba Yuda, wamu n'abakazi, n'abaana baabwe, omuli n'abawere, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.
14. Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya, muzzukulu wa Yeyeeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow'ekika ky'Asafu eyali wakati mu kibiina.
15. N'ayogera nti, “Muwulire, mmwe aba Yuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abagamba Mukama nti, ‘Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.’ ”
16. “Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, nammwe munabasanga ekiwonvu we kikoma era eddungu ly'e Yerweri we litandikira.
17. Tekijja kubeetaagisa kulwana lutalo luno: muyimirire buyimirizi mu bifo byammwe, mulyoke mulabe obuwanguzi Mukama bw'anaabawa mmwe, Yuda ne Yerusaalemi. Temutya era temuterebuka. Enkya mu balumbe, kubanga Mukama ali nammwe.”
18. Awo Yekosafaati n'avuunama ddala ku ttaka, ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, ne bamusinza.
19. Abaleevi ab'omu lulyo lwa Kokasi n'ab'omu lulyo lwa Kola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri n'eddoboozi ery'omwanguka.
20. Enkeera mu makya ne basituka ne bagenda mu ddungu ery'e Tekowa. Awo bwe baali nga batandika okutambula, Yekosafaati n'ayimirira n'abagamba nti, “Mumpulire, mmwe aba Yuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi; mukkirize Mukama Katonda wammwe, bwe mutyo bwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, bwe mutyo bwe munaalaba omukisa.”
23. Abasajja ba Amoni n'aba Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, ne babazikiririza ddala. Bwe baamala okubasaanyawo ate ne bakyukiragana ne batingana.
24. Awo abasajja ba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw'omu ddungu, ne batunuulira eggye lya balabe, ne balaba nga bonna mirambo egigaŋŋalamye, nga tewali awonyeewo.
25. Awo Yekosafaati n'abantu be bwe bajja okubaggyako omunyago, ne basanga wo ebintu bingi n'engoye nnyingi, n'eby'obugagga bingi, ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga babisomba.
26. Awo ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka, ne batendereza Mukama: ekiwonvu ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Beraka, ne leero.
27. Awo Yekosafaati n'akulemberamu aba Yuda n'abe Yerusaalemi, ne baddayo okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama yali awangudde abalabe baabwe.
28. Bwe batuuka e Yerusaalemi, ne bagenda mu nnyumba ya Mukama nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere.
29. Entiisa ya Katonda n'ejja ku bwakabaka bwonna obw'ensi bwe baawulira nga Mukama yalwana n'abalabe ba Isiraeri.
30. Awo obwakabaka bwa Yekosafaati ne butereera: kubanga Katonda we yamuwa emirembe ku enjuyi zonna.
31. Yekosafaati yafuuka kabaka wa Yuda nga wa myaka asatu mu etaano (35), n'afugira emyaka abiri mu etaano (25) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siruki.
32. N'atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi.
33. Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo, era n'abantu baali tebewereddeyo ddala mu mitima gyabwe okusinzanga Katonda wa bajjajjaabwe.
34. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya Yeeku, mutabani wa Kanani, n'ebiyingizibwa ne mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri.
35. Oluvannyuma Yekosafaati yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri eyakola ebibi ebingi.
36. Yeegatta naye okukola ebyombo eby'okugenda e Talusiisi, ne babikolera e Ezyonigeba.
37. Awo Eryeza, mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa, n'alabula Yekosafaati ng'agamba nti, “Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama ajja kuzikiriza by'okoze.” Ebyombo ne bimenyekera mu nnyanja ne bitayinza kugenda e Talusiisi.
1. Katonda ayimirira mu lukiiko olutukuvu, Asala emisango mu bakatonda.
2. Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi?
3. Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe; Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
4. Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga, Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.
5. Tebaamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza. Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.
6. N'ayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.
7. Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira.
1. Awo batambula ne bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
2. Awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, n'amala essabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa,
3. ng'annyonnyola era ng'ategeeza nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti, “ Oyo Yesu nze gwe mbabuulira, ye Kristo.”
4. Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene wamu n'abakazi abakulu mu kibuga ekyo bangi.
5. Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya ne batandika akegugungo mu kibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni nga banoonyamu Pawulo ne Siira babatwale mu maaso g'abantu.
6. Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu ne babatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti, “Bano abavuunika ensi bazze ne wano;
7. ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti, Waliwo kabaka omulala, Yesu.”
8. Ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo ne basasamala.
9. Bwe baamala okweyimiriza Yasooni ne banne ne babata.
10. Amangwago ab'oluganda ne basindika kiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
11. Naye Abayudaaya b'omu Beroya baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.
12. Abayudaaya bangi ne bakkiriza, era n'abakazi Abayonaani bangi ab'ekitiibwa n'abasajja nabo ne bakkiriza.
13. Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo ne mu Beroya, era ne bagendayo ne batabangula ekibiina.
14. Awo amangwago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.
15. Abaawerekera Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, ne bakomawo e Beroya ng'abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy'ali.