7. N'akola bakerubi babiri aba zaabu; omuweese, n'abateeka ku nsonda zombi ez'entebe ey'okusaasira;
8. kerubi omu ku nsonda emu, ne kerubi omu ku nsonda endala; yakola bakerubi mu kitundu eky'entebe ey'okusaasira ku nsonda zaayo ebbiri.
9. Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga batunuuliraganye; amaaso ga bakerubi gaatunuulira entebe ey'okusaasira.
21. Guno gwe muwendo ogw'ebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwanga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona.
22. Ne Bezaaleeri, omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda ye yakola byonna Mukama bye yalagira Musa.
23. Era wamu naye waaliwo Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani, omusazi w'amayinja, era omukozi ow'amagezi, era omudaliza wa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi.
24. Zaabu yonna gye baakoza omulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda (29), ne sekeri lusanvu mu asatu (730), nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri.
25. Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi (100), ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano (1,775), nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri:
26. buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri. Abo abeetaba mu kubalibwa, be bo abaali bawezezza emyaka egy'obukulu abiri (20) n'okusingawo. Baali emitwalo nkaaga, mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550).
27. Ne ttalanta kikumi (100) eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi (100) byava mu ttalanta kikumi (100), buli kinnya ttalanta.
28. Ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano (1,775) n'azikoza ebikwaso eby'empagi, n'abikka ku mitwe gyazo, n'azikolako emiziziko.
29. N'ebikomo eby'ekiweebwayo byali ettalanta nsanvu (70), ne sekeri enkumi bbiri mu bina (2,400).
20. Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, N'ekkubo ery'obwenkanya.
21. Abanjagala mbawa obugagga, Ne njijuza amawanika gaabwe.
51. Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu.
52. Awo Yesu n'amugamba nti, “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo; kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.
53. Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika abasoba mu liigyoni ekkumi n'ebbiri (12)?
54. Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?”
55. Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti, “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Nnatuulanga buli lunaku mu Yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata.
56. Naye bino byonna bikoleddwa, bannabbi bye baawandiika bituukirizibwe.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira, ne badduka.
57. Awo bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde.
58. Naye Peetero yagoberera Yesu ng'amuvaako emabega wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira.
59. Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte;
60. ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne wajjawo babiri (2),
61. ne bagamba nti, “Ono yagamba nti, ‘Nnyinza okumenya Yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu (3).’”
63. Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti, “Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64. Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde, naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”