Bible in one year

1. Awo Yekosafaati naafa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi. Yekolaamu, mutabani we n'amusikira okuba kabaka.
2. Yekolaamu yalina baganda be: Azaliya, Yekyeri, Zekkaliya, Azaliya, Mikayiri ne Sefatiya, abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.
3. Kitaabwe n'abawa ebintu bingi: ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala eby'omuwendo omungi, wamu n'ebibuga ebiriko ebigo ebigumu mu Yuda, naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.
4. Awo Yekolaamu bwe yamala okutuuzibwa ku ntebe ey'Obwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza, n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala, n'abamu ab'oku bakungu ba Isiraeri.
5. Yekolaamu yafuuka kabaka nga wa myaka asatu mu ebiri (32), n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
6. N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, nga ab'ennyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yawasa muwala wa Akabu, n'akola ebibi n'anyiiza Mukama.
7. Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yakola ne Dawudi, era nga yamusuubiza nti ab'omu zzadde lye banaafuganga emirembe gyonna.
8. Ku mirembe gya Yekolaamu, Edomu n'ajeema naava mu bufuzi bwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka.
9. Awo Yekolaamu n'abaduumizi be ne basala ensalo, ne bagenda n'amagaali ge gonna okulumba Edomu. Abaedomu ne bamuzingiza, naye ekiro ne basobola okuwaguza ne bagenda.
10. Bwe batyo Abaedomu ne bajeemera Yuda ne leero. Era mu biseera ebyo, Libuna n'ajeemera Yekolaamu, kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.
11. Era n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'aleetera abantu b'omu Yerusaalemi, n'emu Yuda okusobya Mukama.
12. Awo Yekolaamu n'afuna ebbaluwa eyava ewa Eriya nnabbi, ng'egamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera, Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo, nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo, ne mu ga Asa jjajjaawo, bassekabaka ba Yuda,
13. naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oleteera abantu b'omu Yuda n'emu Yerusaalemi, okuva ku Mukama ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola, okwo n'ossaako okutta baganda bo, ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi:
14. kale nno, Mukama ajja kulwaza abantu bo, abaana bo ne bakazi bo kawumpuli mungi, azikirize n'ebintu byo byonna.
15. Naawe wennyini olirwala endwadde enzibu, erikuluma buli lunaku. Ebyenda byo birirwala, okutuusa lwe bikuvaamu, endwadde erikulumira ddala.”
16. Awo Mukama n'ateeka mu Bafirisuuti n'Abawalabu abaali baliraanye Abaesiyopya, omwoyo ogw'okulwanyisa Yekolaamu,
17. ne balumba Yuda, ne bakiwangula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya kabaka. Ne banyaga batabani be, ne bakazi be bonna okuggyako Yekoyakaazi, mutabani we asingayo obuto.
18. Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna, Mukama n'alwaza Yekolaamu endwadde y'ebyenda.
19. Awo olwatuuka, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bimuvaamu, olw'endwadde ye, n'afiira mu bulumi bungi nnyo. Abantu be ne batamukumira kyoto kumukungubagira nga bwe kyakolebwanga ku bajjajjaabe.
20. Yali wa myaka asatu mu ebiri (32) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. Bwe yafa tewali yamusaalirwa, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.
1. Awo abantu ab'omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu asingayo obuto, kabaka, kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n'atandika okufuga Yuda.
2. Akaziya yali wa myaka ana mu ebiri (42) we yatandikira okufuga, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Asaliya, muwala wa Omuli.
3. Era ne Akaziya n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamupikirizanga okukola obubi.
4. N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuwanga amagezi ag'okumuzikiriza, kitaawe ng'amaze okufa.
5. Era yagobereranga amagezi ge bamuwanga, n'agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, okulwanyisa Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
6. Awo Yolaamu n'akomawo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye baamufumitira e Laama, bwe yali ng'alwana ne Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu, kabaka wa Yuda n'agenda okulaba Yekolaamu mutabani wa Akabu, e Yezuleeri obulwadde.
7. Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okuzikirira kwa Akaziya kulimutuukako ng'akyalidde Yolaamu: kubanga bwe yatuukayo ate n'agenda ne Yekolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.
8. Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'atuukiriza ekibonerezo Katonda kye yasalira ab'ennyumba ya Akabu, n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya abaali bawerekedde Akaziya, n'abatta.
9. N'alagira banoonye Akaziya, ne bamukwatira gye yali yeekwese mu Samaliya, ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta, ne bamuziika, kubanga baagamba nti, “Ye muzzukulu wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna.” Ennyumba ya Akaziya n'etesigalamu muntu wa maanyi okufuuka kabaka.
10. Awo Asaliya, nnyina Akaziya, bwe yalaba nga mutabani omwana we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza ennyumba yonna ey'obwakabaka bwa Yuda.
11. Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka, yali afumbiddwa Yekoyaada, kabona, n'atwala Yowaasi mu bubba, n'amuggya mu baana ba kabaka abali bagenda okuttibwa, n'amukweka n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu. Bwatyo n'amuwonya okuttibwa Asaliya.
12. Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama okumala emyaka mukaaga, nga Asaliya y'afuga ensi.
1. Ayi Katonda, tosirika nate. Toleka kwogera, n'otobaako ky'okola, Ayi Katonda.
2. Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana, N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe.
3. Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.
4. Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.
5. Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe:
6. Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale;
7. Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo,
8. Era n'Obwasuli bwe gasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti.
1. Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa n'aguza gy'ayagala yonna.
16. Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kujjudde ebifaananyi.
17. Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga.
18. Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti, “Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono?” Abamu ne bagamba nti, “ Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya,” kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
19. Ne bamutwala ne bamuleeta mu Aleyopaago nga bagamba nti, “ Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?
20. Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g'ebigambo bino.”
21. Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba kuwuliranga ekigambo ekiggya.
22. Pawulo n'ayimirira wakati mu Aleyopaago n'agamba nti: “Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.
23. Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira.
24. Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono,
25. so taweerezebwa mikono gy'abantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;
26. yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe:
27. banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe:
28. kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye.
29. Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu.
30. Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya,
31. kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.”
32. Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋŋoola; abalala ne bagamba nti, “ Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.”
33. Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati.
34. Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukazi erinnya lye Damali n'abalala wamu nabo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.