1. Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu Weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti,
2. “Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti omuntu yenna mu mmwe bwawangayo ekiweebwayo, anaakiggyanga ku nte ze, oba ku mbuzi ze.
3. “Bw'anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema; anaagiweerangayo ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
4. Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira.
5. Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, ne bagumansira ku njuyi zonna ez'ekyoto ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
6. Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo.
7. Awo abaana ba Alooni kabona, banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro;
8. awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto;
10. “Era bw'anaawangayo ku ndiga ze oba ku mbuzi ze, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, anaawangayo nnume eteriiko bulema.
11. Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiikakkono mu maaso ga Mukama; n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
12. Awo anaagisalangamu ebitundu byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo; awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto;
14. “Era bw'anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukamukuukulu oba amayiba amato.
15. Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto;
16. awo anaakaggyangamu ekisakiro kyako n'ebikirimu n'abisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu;
17. era anaakayuzanga n'ebiwawaatiro byako, takasalangamu. Awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
1. “Era omuntu yenna bw'awangayo ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama, kinaabanga kya butta bulungi; era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu;
2. awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona. Kabona anaayolangako olubatu olw'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta n'omugavu n'abwokera ku kyoto, okuba ekijjukizo eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
27. Awo basserikale b'owessaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋŋaanyizaako ekitongole kyonna.
28. Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu.
29. Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, ne bamukwasa n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!”
30. Ne bamuwandira amalusu, ne batoola olumuli luli ne bamukuba mu mutwe.
31. Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye luli olumyufu, ne bamwambaza ebyambalo bye, ne bamutwala okumukomerera.
32. Awo bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukuleene, erinnya lye Simooni; ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwa Yesu.
33. Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga,
34. ne bawa Yesu omwenge okunywa ogutabuddwamu omususa; naye bwe yalegako, n'atayagala kunywa.
35. Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu;
36. ne batuula awo ne bamukuuma.
37. Ne bassa waggulu ku mutwe gwe omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
38. Awo abanyazi babiri (2) ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
39. N'abantu abaali bayitawo ne bamuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe,
40. nga bagamba nti, “Ggwe amenya Yeekaalu, n'ogizimbira ennaku essatu (3), weerokole! oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.”
41. Bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde ne baduula bwe batyo, nga bagamba nti,
42. “ Yalokolanga balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.”
43. “Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala, kubanga yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”
44. Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo.
45. Awo okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
51. Laba, olutimbe olwali mu Yeekaalu ne luyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika;
52. entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa;
53. ne bava mu ntaana. Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, abantu bangi ne ba balaba.
54. Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti, “Mazima ono abadde Mwana wa Katonda!”