Bible in one year

1. “Era omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe, ku nte oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama.
2. Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
3. Era bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaawangayo amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda,
4. n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, anaabiggyangako.
5. Awo abaana ba Alooni banaabyokeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
6. “Era Omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema.
7. Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekiweebwayo kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama;
8. awo anaateekanga engalo ze ku mutwe bw'ekiweebwayo kye, n'agittiranga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto.
9. Era bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; anaawangayo amasavu gaayo, omukira omusava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo, n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
10. n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, anaabiggyangako.
11. Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto; ng'eky'okulya ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
12. “Era bw'anaawangayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama;
13. awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto.
14. Awo ku kiweebwayo ekyo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
15. n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi ku kibumba anaabiggyangako.
16. Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi.
17. Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.”
1. Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti,
2. “Gamba abaana ba Isiraeri nti omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo;
3. kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; anaawangayo eri Mukama ente ennume envubuka, eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ky'akoze.
4. Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'agittira mu maaso ga Mukama.
5. Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri Eweema ey'okusisinkanirangamu;
6. awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'olutimbe olw'awatukuvu.
7. Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
8. Anagiggyangamu amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
9. n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako,
10. nga bwe gaggyibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa.
11. Eddiba ly'ente, ennyama, omutwe, amagulu, eby'enda n'obusa bwayo,
12. byonna anaabitwalanga ebweru w'olusiisira, mu ekifo ekyateekebwawo ekiyiibwamu evvu; abyokerenga eyo.”
13. Era ekibiina kyonna ekya Isiraeri bwe kinaasobyanga, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'ekitamanyibwa abasinga obungi mu kibiina, nga bazizza omusango.
14. Amangu ng'ekibi ekyo kye bakoze kimanyiddwa, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, banaagiretanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
15. Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama; ne bagittira mu maaso ga Mukama.
16. Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente mu Weema ey'okusisinkanirangamu;
17. awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama mu maaso g'eggigi.
18. Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
19. Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna n'agookera ku kyoto.
20. Bw'atyo bw'anaakolanga ente eno; kabona anaatangiriranga abantu ne basonyiyibwa.
21. Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente eyolubereberye; kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.
22. “Omukulembeze yenna bw'ayonoonanga, nga tagenderedde mu kigambo kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango;
23. Era bw'anaategeezebwanga ky'ayonoonye, anaaleetanga embuzi ennume eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo kye;
24. awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; kye kiweebwayo olw'ekibi.
25. Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto.
26. Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasonyiyibwanga.
27. “Era omuntu yenna owa bulijjo bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, n'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango;
28. bw'anaategeezebwanga ekibi ky'akoze, anaaleetanga embuzi enkazi eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi kye.
29. Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa.
30. Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.
31. Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna nga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.
32. “Era bw'anaaleetanga omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko bulema.
33. Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa.
34. Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.
35. Anaggyangamu amasavu gaayo gonna, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro ekya Mukama; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, naye anaasonyiyibwanga.
1. Mukama ye musumba wange, sseetaagenga.
2. Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto. Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu.
3. Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye.
4. Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.
5. Onteekerateekera ekijjulo nga abalabe bange balaba. Onsiize amafuta ku mutwe, ekikopo kyange kibooze.
6. Obulungi n'ekisa kyo binaabanga nange ennaku zonna ez'obulamu bwange. Nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama emirembe gyonna.
1. Amagezi gazimbye ennyumba yaago, Gasimbye empagi zaago musanvu:
2. Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago; Era gategese ekijjulo.
3. Gasindise abawala baago, boogerera waggulu Mu bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu,
4. Nti, “Buli atalina magezi ayingire muno.” Nooyo atalina kutegeera gamugamba nti,
5. “Jjangu olye ku mmere yange, Era onywe ku mwenge gwe ntabudde.
6. Lekanga abo abatalina magezi, obeerenga omulamu.” Era tambuliranga mu kkubo ery'okutegeera.
55. Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, era abaamuweerezanga abaayimirira ewalako nga balengera;
56. mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo.
57. Naye obudde bwali buwungeera, omusajja omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu najja, era naye yali muyigirizwa wa Yesu.
58. Oyo n'agenda eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa.
59. Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru,
60. n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi; n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda.
61. Malyamu Magudaleene, ne Malyamu omulala, baali nga batudde awo mu maaso g'entaana.
62. Naye enkeera, lwe lunaku olwaddirira olw'okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato,
63. ne bagamba nti, “Omwami, tujjukidde omulimba oyo ng'akyali mulamu, yagamba nti, ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu ndizuukira.’
64. Kale nno lagira bakuumire ddala entaana okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kujja kumubbamu, bagambe abantu nti, ‘Azuukidde mu bafu,’ era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.”
65. Piraato n'abagamba nti, “Mulina abakuumi; mugende, mugakuumire ddala nga bwe muyinza.”
66. Nabo ne bagenda, ne bagakuumira ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.