Bible in one year

1. Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi; Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.
2. Bano be batabani ba Dawudi be yazaalira e Kebbulooni; Omubereberye ye Amunoni, nnyina nga ye Akinoamu Omuyezuleeri;
3. Ow'okubiri ye Kireyaabu, nga nnyina ye Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri; Ow'okusatu ye Abusaalomu, nga nnyina ye Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w'e Gesuli;
4. Ow'okuna ye Adoniya, nga nnyina ye Kaggisi; ow'okutaano ye Sefatiya, nga nnyina ye Abitali;
5. Ow'omukaaga ye Isuleyamu, nga nnyina ye Egula mukazi wa Dawudi. Abo Dawudi be yazaalira e Kebbulooni.
6. Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi; mu nnyumba ya Sawulo.
7. Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya; Isubosesi n'abuuza Abuneeri nti, “Lwaki wegatta n'omuzaana wa kitange?”
8. Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti, “Olowooza ndi mutwe gwe mbwa ya Yuda? Okutuusa kaakati mbadde ku ludda lw'ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, kyokka onnanze omusango ogw'omukazi oyo.
9. Nze Abuneeri, Katonda anzitte, bwe sirituukiriza ekyo Mukama kyeyalayirira Dawudi;
10. okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba.”
11. Isubosesi n'atayinza kwanukula Abuneeri kigambo kirala, kubanga yamutya.
12. Amangwago Abuneeri n'atuuma ababaka eri Dawudi okumugamba nti, “Ani nannyini nsi? Kola nange endagaano ndyoke nkuyambe okuzza Isiraeri yonna ku ludda lwo.”
13. Dawudi n'amuddamu nti, “Kale, nja kulagaana naawe, singa onookkiriza okundeetera Mikali muwala wa Sawulo ng'ojja okundaba.”
14. Awo Dawudi n'atuuma ababaka eri Isubosesi mutabani wa Sawulo ng'agamba nti, “Mpa mukazi wange Mikali gwe nnaasasulira ebikuta ekikumi (100) eby'Abafirisuuti.”
15. Awo Isubosesi n'atumya Mikali, n'amuggya ku bba Palutieri mutabani wa Layisi.
16. Palutieri n'agenda ng'akaaba, n'awondera Mikali okutuuka mu kibuga Bakulimu. Abuneeri n'agamba Palutieri nti, “Genda, ddayo eka.” Awo n'addayo.
17. Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe;
18. kale kaakano mukikole, kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti, ‘Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi mwendirokolera abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.’ ”
19. Abuneeri era n'ayogera n'Ababenyamini n'alyoka agenda e Kebbulooni okutegeeza Dawudi Ababenyamini n'Abaisiraeri bonna kye basazeewo okukola.
20. Awo Abuneeri n'ajja eri Dawudi n'abasajja abiri (20). Dawudi n'abafumbira embaga.
21. Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti, “Nja kusituka ŋŋende nkuŋŋaanyize Abaisiraeri bonna gy'oli mukama wange kabaka, bakole naawe endagaano, olyoke ofuge bonna nga bwe wayagala.” Awo Dawudi n'asiibula Abuneeri, Abuneeri n'agenda mirembe.
22. Mu kaseera ako, Yowaabu n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne bakomawo okuva mu kikwekweto nga bazze n'omunyago mungi. Kyokka baasanga Abuneeri takyali na Dawudi mu Kebbulooni, kubanga Dawudi yali amusiibudde, era Abuneeri ng'agenze mirembe.
23. Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti, “Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusiibudde mirembe”
24. Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka Dawudi n'amugamba nti, “Okoze ki kino! Abuneeri okujja gy'oli n'amuleka n'agenda bugenzi?”
25. Mmanya nga Abuneeri mutabani wa Neeri yazze kukulimba, n'okumanya bw'ofuluma ne bw'oyingira n'okumanya byonna by'okola.
26. Awo Yowaabu bwe yava ewa Dawudi n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamusanga ku luzzi lwa Siira ne bamukomyawo naye nga Dawudi tamanyi.
27. Abuneeri bwe yakomawo mu Kebbulooni, Yowaabu n'amuzza ku bbali w'omulyango, n'aba ng'ayagala okumukuba akaama. Bwe baali awo, n'amufumita olubuto n'amutta, kubanga Abuneeri yali asse Asakeri muganda we.
28. Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti, “Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri;
29. gubeerenga ku Yowaabu n'abennyumba ya kitaawe yonna! Era mu buli mulembe gwonna, mu nnyumba ya Yowaabu mubengamu omulwadde w'enziku, omugenge, omulema, attirwa mu lutalo, oba abulwa emmere.”
30. Bwe batyo Yowaabu ne Abisaayi muganda we bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo.
31. Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna nti, “Muyuze engoye zammwe, mwesibe ebibukutu, mukungubagire Abuneeri.” Kabaka Dawudi n'agoberera olunnyo.
32. Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni; kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga.
33. Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'ayogera nti, “Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa?
34. Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba; Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo.” Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga.
35. Abantu bonna ne bajja okusikiriza Dawudi okulya ku mmere nga obudde bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti, “Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa!”
36. Kino abantu bonna ne bakitegeera, ne kibasanyusa. Era byonna kabaka Dawudi bye yakolanga, abantu baabisiimanga.
37. Abantu ba Dawudi bonna n'abantu ba Isiraeri bonna, ne bakitegeera ku lunaku olwo nti tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.
38. Kabaka n'agamba abaweereza be nti, “Temumanyi nti omukulembeze ow'amaanyi era ow'ekitiibwa mu Isiraeri afudde olwa leero?
39. Newakubadde nga nnafukibwako amafuta okuba kabaka, olwaleero mpulira nga sirina maanyi. Batabani ba Zeruyiya bano bayitiridde okuba abakakanyavu gyendi. Akoze ekibi ekyo, Mukama amusasule ng'obubi bwe, bwe buli!”
1. Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira nga Abuneeri bamutidde e Kebbulooni naatya nnyo, n'Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.
2. Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri (2) abaami b'ebibiina; omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri ng'erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini; Beerosi kyali kitundu kya Benyamini.
3. Abatuuze abaasooka okukibeeramu baali baddukidde e Gittayimu era gye babeera n'okutuusa kaakati.
4. Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina mutabani we eyalemala amagulu, ng'erinnya lye ye Mefibosesi. Omwana oyo yalina emyaka etaano (5) egy'obukulu Sawulo ne Yonasaani we baafiira. Omuntu bweyava e Yezuleeri n'abika Sawulo ne Yonasaani, omulenzi w'omwana oyo n'amusitula n'adduka. Naye olw'okubanga yali mu bwangu, omwana yamusimattukako n'agwa n'alemala.
5. Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi ku ssaawa nga mukaaga ez'omuttuntu, ne basanga nga Isubosesi awumuddeko.
6. Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde ng'abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Lekabu ne muganda we Baana ne badduka.
7. Baayingira mu nnyumba nga Isubosesi yeebase ku kitanda mu kisenge mwasula, ne bamufumita ne bamutta. Ne bamutemako omutwe, ne bagutwala. Ne batambula ekiro kyonna, nga bayita mu kkubo erya Alaba.
8. Omutwe gwa Isubosesi ne baguleetera kabaka Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Guguuno omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyali ayagala okukutta.”
9. Dawudi n'abaddamu nti, “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna!
10. Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka n'amukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye n'amuwa olw'amawulire ge ago!
11. Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Sisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Isubosesi, ne mbasanyaawo ku nsi kuno?”
12. Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta Lakabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Ne batwala omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri e Kebbulooni.
5. Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka; Kubanga oyo okusuubira kwange mwe kuva.
6. Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange; Oyo kye kigo kyange ekiwanvu, sirisagaasagana.
7. Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange; Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda.
8. Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mumwanjulirenga byonna ebiri mu mutima gwammwe; Katonda kye kiddukiro gyetuli.
9. Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba; Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa.
10. Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga; Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo.
11. Katonda yayogera omulundi gumu, Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri; Nga Katonda ye nannyini buyinza;
12. Era ggwe, Ayi Mukama, ggwe olina okwagala okutuukiridde. Kubanga osasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.
13. Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'amazima.
14. Kabaka bw'asunguwala ayinza okutta; Naye omuntu ow'amagezi amuwooyawooya mangu.
15. Okusanyuka kwa kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kulinga enkuba ya ttoggo.
31. Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti, “Labbi, lya ku mmere.”
32. Naye n'abagamba nti, “Nnina eky'okulya kye ndya kye mutamanyi.”
33. Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti, “Waliwo omuntu amuleetedde eky'okulya?”
34. Yesu n'abagamba nti, “Eky'okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.
35. Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa.
36. Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu.
37. Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti, ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’
38. Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera; abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.”
39. Ab'omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna.
40. Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo; n'asulayo ennaku bbiri.
41. Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye,
42. ne bagamba omukazi nti, “Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.”
43. Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya.
44. Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti, “Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.”
45. Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga, kubanga nabo baagenda ku mbaga.
46. Awo n'ajja nate e Kaana eky'e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu.
47. Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.
48. Awo Yesu n'amugamba nti, “Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.”
49. Omukungu n'amugamba nti, “Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.”
50. Yesu n'amugamba nti, “Genda; omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda.
51. Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti, “Omwana we mulamu.”
52. Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti, “Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.”
53. Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti, “Omwana wo mulamu;” ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.
54. Kano ke kabonero ak'okubiri Yesu ke yakola ng'akomyewo e Buyudaaya okuva e Ggaliraaya.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.