5. Awo ne balonda mu nkumi n'enkumi z'Abaisiraeri, abasajja lukumi (1,000) okuva mu buli kika, ne baweza abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), nga balina eby'okulwanyisa.
6. Musa n'abasindika okutabaala, nga bakulembeddwa Fenekansi, mutabani wa Eriyazaali kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu watukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa.
7. Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta abasajja bonna.
8. Mu abo abattibwa mu lutalo olwo, mwalimu ne bakabaka abataano Abamidiyaani bano: Evi, Lekemu, Zuuli, Kuula, ne Leeba. Era mwe battira ne Balamu mutabani wa Byoli.
9. Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana baabwe abato; amagana g'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi, n'ebintu ebirala byonna.
10. N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne ba byokya omuliro.
11. Ne batwala omunyago gwonna gwe baafuna, omwali abantu n'ensolo.
12. Ne baleeta omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona, n'eri ekibiina eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu eziri ku Yoludaani, okwolekera Yeriko.
13. Awo Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okusisinkana eggye lya Isiraeri ebweru w'olusiisira.
14. Musa n'asunguwalira abakulu b'eggye abakulira enkumi n'abaami b'ebikumi, abaakomawo nga bava mu lutabaalo.
15. Musa n'abagamba nti, “Abakazi bonna mubalese nga balamu?
16. Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Peoli, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abaisiraeri obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama.
17. Kale kaakano mutte buli mwana ow'obulenzi, era mutte buli mukazi eyali yeegasseeko n'omusajja.
19. Era musigale ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyatta omuntu yenna, oba eyakoma ku mulambo; mmwe mwenna n'abawambe bammwe mwerongoose ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu.
20. Era mutukuze buli kyambalo, na buli kintu eky'eddiba, n'ebintu ebirala byonna ebyakolebwa mu byoya by'embuzi, era n'ebintu byonna eby'emiti.”
23. buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi.
24. Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.”
25. Mukama n'agamba Musa nti,
26. “Ggwe ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu, mubale omuwendo ogw'omunyago ogw'abantu era n'ensolo.
28. Ku mugabo gw'abatabaazi abaatabaala, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe bitaano (500). Era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi ne ku ndiga.
30. Ku mugabo ogw'Abaisiraeri abataatabaala, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe ataano, era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi, ku ndiga ne ku nsolo endala zonna; obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.”
31. Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yabalagira
32. Ebintu ebyasigalawo ku mugabo abatabaazi gwe baanyaga nga bamaze okuggyako omusolo gwa Mukama byali: endiga obusiriivu mukaaga mu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (675,000),
33. ente emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000),
34. endogoyi emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000),
35. n'abawala embeerera emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).
36. Omugabo gw'abo abaatabaala gwali: endiga obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500),
37. n'omusolo gwa Mukama ogwasoloozeebwa ku ndiga gwali endiga lukaaga mu nsanvu mu ttaano; (675)
38. ku nte emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), omusolo gwa Mukama gwali ente nsanvu mu bbiri (72),
39. ku ndogoyi emitwalo esatu mu bitaano (30,500), omusolo gwa Mukama, gwali nkaaga mu emu (61),
40. ku bawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000), omusolo gwa Mukama gwali abawala asatu mu babiri (32).
41. Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; n'awa Eriyazaali kabona, omusolo ogwo gwonna, nga kye kiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama.
43. endiga ez'abantu zaali obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500),
44. ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga (36,000),
45. endogoyi zaali emitwalo esatu mu bitaano (30,500),
46. n'abawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000).
47. Ku mugabo ogwaweebwa abantu, Musa n'aggyako omuntu omu ku buli bantu ataano (50), n'ensolo emu ku buli nsolo ataano (50), nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama.
48. Awo abakulembeze mu ggye ab'enkumi n'ab'ebikumi ne bajja eri Musa,
49. ne bamugamba nti, “Ffe abaweereza bo tubaze abatabaazi be twakulembera, ne kutabulako n'omu.
50. Kye tuvudde tuleeta ekirabo kya Mukama ku by'obuyonjo buli omu by'afunye: zaabu, emikuufu, emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama.”
51. Musa ne Eriyazaali kabona, ne babaggyako ezaabu, n'eby'obuyonjo byonna ebiweese.
52. Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baawaayo eri Mukama, yali eweza sekeri omutwalo gumu mu kakaaga mu lusanvu mu ataano (16,750).
54. Musa ne Eriyazaali kabona, ne batwala ezaabu abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baaleeta, ne bagissa mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebeerenga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama.
1. Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo ddala. Awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi nga nnungi okulundiramu ensolo;
2. ebika byombi, ne bigenda eri Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu ne babagamba nti,
3. “Atalisi, Diboni, Yazeri, Nimula, Kesuboni, Ereale, Sebamu, Nebo ne Beoni,
4. ensi Mukama gye yawangula mu maaso g'ekibiina kya Isiraeri, nsi nnungi nnyo okulundiramu ensolo, ate naffe abaweereza bo tuli balunzi ba nsolo.”
5. Ne boogera nti, “Tusaba tuweebwe ensi eno okuba obutaka bwaffe, tuleme kusomoka Yoludaani.”
6. Musa n'addamu abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti, “Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga musigadde wano?
27. Naye abaweereza bo banaasomoka, buli musajja nga akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama okutabaala, nga ggwe mukama waffe bw'oyogedde.”
28. Awo Musa ebigambo ebyo eby'abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'abiragira Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'ebika by'Abaisiraeri.
29. Musa n'abagamba nti, “Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja ng'akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama, ne muwangula ensi; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka bwabwe.
30. Naye bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, obutaka bwabwe buliba wamu n'obwammwe mu nsi ya Kanani.”
31. Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Nga Mukama bw'agambye abaddu bo, bwe tutyo bwe tunaakola.
32. Tunaasomoka nga tukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama okuyingira mu nsi ya Kanani okulwana, naye obutaka bwaffe bulibeera eno ebuvanjuba bwa Yoludaani.”
33. Musa n'awa abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, mutabani wa Yusufu, obwakabaka obwali obwa Sikoni, kabaka w'Abamoli, n'obwali obwakabaka bwa Ogi, kabaka w'e Basani, ensi n'ebibuga byamu nga bwe byali, n'ebitundu ebyetoolodde wo.
34. Abaana ba Gaadi ne bazimba ebibuga ebiriko enkomera: Diboni, Atalosi, Aloweri;
35. Aterosisofani, Yazeri ne Yogubeka;
36. ne Besunimira ne Besukalaani; ne bazimba n'ebisibo by'endiga.
37. Abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni, Ereale ne Kiriyasayimu;
38. Nebo, ne Baalumyoni, nga bakyusizza amannya gaabyo. Ne bazimba ne Sibima. Ebibuga ebyo bye baazimba, ne babituuma amannya amalala.
39. Abaana ba Makiri mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi, ne balwanyisa Abamoli abakirimu, bo ne batuula omwo.
40. Musa n'awa Makiri mutabani wa Manase ensi eya Gireyaadi; n'abeera omwo.
41. Yayiri mutabani wa Manase, n'agenda n'alumba ebimu ku byalo by'Abamoli n'abiyita Kavosuyayiri.