1. Awo nga wayise ekiseera kiwanvu era nga Mukama awadde abaana ba Isiraeri okuwummula eri abalabe baabwe bonna abaali babeetooloodde, nga ne Yoswa akaddiye nnyo;
5. Ne Mukama Katonda wammwe aligoba amawanga ago nga mulaba, nammwe ne mutwala ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
6. Kale mwekuumenga, mukolenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa, temubivangako okukyamira ku mukono ogwa ddyo ne wankubadde ogwa kkono;
7. era muleme nga kwetaba na b'amawanga gano abasigadde mu mmwe, oba okukoowoolanga amannya ga bakatonda baabwe, oba okugakozesanga nga mulayira, oba okusinza bakatonda abo, wadde okubafukaamirira;
8. naye munywerere ku Mukama Katonda nga bwe mubadde mukola okutuusa kaakano.
9. Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi nga mulaba; naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa kaakano.
11. Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe.
12. Kubanga bwe mulidda emabega, ne mwegatta n'ab'amawanga ago agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwa nabo,
13. mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli, n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.”
14. “Mulabe nze nnaatera okufa. Mwenna mumanyi bulungi mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe, nga Mukama abawadde ebirungi byonna bye yasuubiza, buli kirungi kye yasuubiza akituukirizza. Tewali na kimu kibuzeeko.
15. Naye nga bwatuukiriza buli kirungi kyeyabasuubiza, bwemulijeema bwatyo Mukama bwalibatuusako buli kabi konna ke yabagamba okutuusa lwalibazikiririza ddala okuva mu nsi eno ennungi gye yabawa.
16. Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.”
1. Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakulembeze be nnyumba z'ebika bya baana ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne bajja mu maaso ga Katonda.
2. Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Fulaati, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli; ne basinzanga bakatonda abalala.
3. Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.
4. Isaaka n'amuwa Yakobo ne Esawu; ne mpa Esawu Seyiri ensi ey'ensozi okuba eyiye; Yakobo n'abaana be ne baserengeta mu Misiri.
5. Oluvannyuma nnentuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye n'akolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe.
6. Nenzigya bajjajjammwe e Misiri, ne baatuka ku nnyanja emyufu. Abamisiri ne babawondera n'amagaali n'abeebagadde embalaasi.
7. Bajjajjammwe ne bankoowoola nze Mukama mbayambe. Nnenteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Nnenteekawo ekkubo mu nnyanja, bajjajjammwe ne bayitawo, Abamisiri bwe baabawondera ne mbazikiririza mu nnyanja, ne mbasanyawo; era mwalaba na maaso gammwe bye nnakola mu Misiri; era mwamala ennaku nnyingi nnyo mu ddungu.
8. Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani; ne balwana nammwe, ne mbawa mwe okubawangula ne mutwala ensi yaabwe, ne mbazikiririza ddala mu maaso gammwe.
9. Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n'ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira,
10. naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate, bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwa Balaki.
11. Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko, n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbabawa ne mubawangula.
12. Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, ne bagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo.
13. Ne mbawa ensi gye mutakolerera n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; era ne mulya ne ku bibala by'ensuku ez'emizabbibu ne z'emizayituuni ze mutaasimba.’
14. Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa; era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga Fulaati, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.
15. Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli; naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”
16. Abantu ne baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala;
17. kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati;
18. Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi; era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.”
32. Amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baleeta nga bava e Misiri, ne bagaziika e Sekemu, mu ttaka Yakobo lye yagula ebitundu bya ffeeza ekikumi (100), ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Ettaka eryo ne liba obusika bw'abaana ba Yusufu.
33. Eriyazaali mutabani wa Alooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finekaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efulayimu.
1. Mukube mu ngalo, mmwe abantu mwenna! Mwogerere waggulu eri Katonda, n'eddoboozi ery'essanyu!
2. Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa, Ye kabaka omukulu afuga ensi zonna.
23. Omuntu omu n'amubuuza nti, “ Mukama wange, be batono abalokolebwa?” Yesu n'amuddamu nti,
24. “Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza.
25. Nannyini nnyumba bw'alimala okusituka, n'aggalawo oluggi, muliyimirira ebweru, ne mutandika okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva;
26. ne mulyoka mutandika okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe;
27. kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi, mwenna abakola ebitali bya butuukirivu.
28. Eyo eribaayo okukaaba n'okulumwa obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru.
29. Balijja nga bava ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, balituula ku mbaga mu bwakabaka bwa Katonda.