Bible in one year

1. “Era lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: Ky'ekitukuvu ennyo.
2. Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango; n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku njuyi zonna ez'ekyoto.
3. Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda,
4. n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako;
5. awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango.
6. Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu; kye kitukuvu ennyo.
7. Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo, etteeka lyabyo lye limu; kabona anaakitangirizanga y'anaakitwalanga.
8. Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo.
9. Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.
10. Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta oba ekitatabuddwamu, kinaatwalibwanga abaana ba Alooni bonna ne bakigabana kyenkanyi.
11. “Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, omuntu by'anaawangayo eri Mukama.
12. Omuntu bw'anaagiwangayo olw'okwebaza, kale anaagiweerangayo wamu ne ssaddaaka ey'okwebaza, ey'emigaati egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta obunnyikidde.
13. Ku ssaddaaka ey'emirembe gy'awaayo olw'okwebaza, anaaleterangako n'emigaati egizimbulukusiddwa.
14. Era ku ssaddaaka ey'emirembe anaawangayo omugaati gumu ku buli kiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.
15. Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.
16. Bw'anaawangayo ssaddaaka nga ya bweyamo oba gy'awaayo nga yeeyagalidde, eneeriibwanga ku lunaku olwo lw'agiwaddeyo, era eneefikkangawo eneeriibwanga n'enkya;
17. naye bw'eneefikkanga okutuusa ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga n'omuliro.
18. Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama taagikkirizenga nga ssaddaaka. Eneebanga ya muzizo, era omuntu anaagiryangako anaafuukanga atali mulongoofu.
19. Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwenga; eneeyokebwanga n'omuliro. Ennyama eyo, buli mulongoofu ye anaagiryangako.
20. Naye omuntu atali mulongoofu bw'anaalyanga ku ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekya Mukama anaaboolebwanga okuva mu bantu be.
21. Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu, oba obutali bulongoofu obw'omuntu oba obw'ensolo, oba ekintu ekirala kyonna eky'omuzizo; n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ebya Mukama, anaaboolebwanga okuva mu bantu be.”
22. Mukama n'agamba Musa nti,
23. “Gamba abaana ba Isiraeri nti, Temulyanga ku masavu ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi.
24. Amasavu g'eyo efa yokka, n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo, ganaabanga ag'emirimu emirala gyonna; temugalyangako n'akatono.
25. Buli alya ku masavu g'ensolo eweebwayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaaboolebwanga mu bantu be.
26. Mu nnyumba zammwe zonna, temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, oba gwa nnyonyi oba gwa nsolo.
27. Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, anaaboolebwanga mu bantu be.”
28. Mukama n'agamba Musa nti,
29. “Gamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaawangayo ssaddaaka olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekiweebwayo kye eri Mukama;
30. ye yennyini anaaleetanga ebiweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro mu ngalo ze. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama.
31. Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto; naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be.
32. N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe.
33. Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaatwalanga ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe.
34. Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nzigye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, mbiwadde Alooni kabona n'abaana be, okuba omugabo gwabwe emirembe gyonna.
35. Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggyibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, ku lunaku lwe baafukibwako amafuta okuweereza Mukama mu bwakabona.
36. Guno gwe gunaabanga omugabo gwabwe mu mirembe gyabwe gyonna.”
37. Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango, n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe;
38. Mukama lye yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yagambirako abaana ba Isiraeri okuwangayo ebiweebwayo byabwe eri Mukama.
1. Mukama n'agamba Musa nti,
2. “Twala Alooni n'abaana be, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okubafukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu emigaati egitazimbulukusiddwa;
3. okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.”
4. Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
5. Musa n'agamba ekibiina nti, “Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola.”
6. Musa n'aleeta Alooni n'abaana be, n'abanaaza n'amazzi.
7. N'ayambaza Alooni ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amussaako omunagiro, n'amwambaza ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olukoba olwo.
8. N'amussaako eky'oku kifuba; ne mu ky'okukifuba n'ateekamu Ulimu ne Sumimu.
9. N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira.
10. Musa n'addira amafuta, n'agafuka ku Weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza.
11. N'amansirako ne ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu, n'entobo yaakyo, okubitukuza.
12. N'afuka amafuta ku mutwe gwa Alooni okumutukuza
13. Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yamulagira.
14. N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi.
15. N'agitta; Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ku enjuyi zonna, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitangirira okukitukuza.
16. Musa n'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'abyokera ku kyoto.
17. Naye ennyama esigaddewo, n'eddiba, n'obusa n'abyokera ebweru w'olusiisira nga Mukama bwe yamulagira.
18. N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
19. N'agitta; Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
20. N'asala mu ndiga ebitundu byayo; omutwe, n'ebitundu, n'amasavu n'abyokya.
21. N'anaaza n'amazzi ebyenda n'amagulu gaayo. Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto; yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi; yali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
22. N'aleeta endiga ennume eyokubiri, endiga ey'okwawula; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
23. Musa n'agitta; n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwe okwa ddyo,
24. N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga omusaayi ku nsonda y'amatu gaabwe aga ddyo, ne ku bigere ebisajja eby'amagulu gaabwe aga ddyo, n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
25. N'addira amasavu, n'omukira omusava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'okukibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo;
26. ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukusiddwa ekyali mu maaso ga Mukama, n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukusiddwa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo;
27. byonna n'abiteeka mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
28. Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa; byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi, kyali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
29. Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yamulagira.
30. Musa n'atoola ku mafuta ag'okutukuza, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo byabwe; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be n'ebyambalo byabwe.
31. Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti, “Mufumbire ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagirwa nti, ‘Alooni n'abaana be be banaabiryanga.’
32. Era ekinaafikkawo ku nnyama ne ku migaati, munaakyokya n'omuliro.
33. So temufulumanga mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe ziriggwaako; kubanga alibaawulira ennaku musanvu.
34. Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira.
35. Era ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.”
36. Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira ng'ayita mu Musa.
7. Mugguleewo emiryango, Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka ow'ekitiibwa ayingire.
8. Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow'amaanyi n'obuyinza, Mukama omuzira mu lutalo.
9. Mugguleewo emiryango, Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka ow'ekitiibwa ayingire.
10. Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa.
10. Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera.
11. Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwako, N'emyaka egy'obulamu bwo girisukkirizibwa.
12. Bw'oba n'amagezi, amagezi go ga kuyamba, Naye bw'onyooma amagezi weerumya wekka.
1. Okusooka kw'Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
2. Nga bwe kyawandiikibwa nnabbi Isaaya nti, “Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo;
3. Eddoboozi lye ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;”
4. Yokaana Omubatiza yajja mu ddungu, n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi.
5. N'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali n'ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.
6. Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, ne yeesibanga olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
7. N'abuulira ng'agamba nti, “Oluvannyuma lwange waliwo ajja, ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula bukoba bwa ngatto ze.
8. Nze mbabatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.”
9. Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja n'abatizibwa Yokaana mu mugga Yoludaani.
10. Bwe yali yakava mu mazzi, amangwago Yesu n'alaba eggulu nga libikkuse n'Omwoyo ng'amukkako ng'ejjiba;
11. n'eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”
12. Amangwago Omwoyo n'asindika Yesu mu ddungu.
13. N'abeera mu ddungu ennaku ana (40) ng'akemebwa Setaani; n'aba wamu n'ensolo; ne bamalayika nga bamuweereza.
14. Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira Enjiri ya Katonda,
15. ng'agamba nti, “Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize Enjiri.”
16. Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya, Yesu n'alaba Simooni ne Andereya muganda we nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
17. Yesu n'abagamba nti, “Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu.”
18. Amangwago ne baleka awo obutimba ne bamugoberera.
19. Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe.
20. Amangwago n'abayita: ne baleka awo kitaabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakolera empeera, ne bamugoberera.
21. Ne bayingira mu Kaperunawumu; amangwago ku lunaku lwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza.
22. Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.