Bible in one year

1. Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola,
2. awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti, “Laba nno, nze nsula mu nnyumba ey'emivule naye nga essanduuko ya Mukama nga eri mu weema.”
3. Awo Nasani n'agamba kabaka nti, “Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe.”
4. Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Nasani nti,
5. “Genda ogambe omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba gyendibeeramu?’
6. Kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe n'aggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'okutuusa leero, naye natambuliranga mu weema.
7. Mu bifo byonna mwe n'atambulira n'abaana ba Isiraeri, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nalonda okukulembera abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?
8. Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri;
9. era nabanga naawe buli gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.
10. Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye,
11. era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era Mukama nate akubuulira nti alikwaza.
12. Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo omu ku baana bo okuba kabaka era ndinyweza obwakabaka bwe.
13. Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna.
14. Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anakolanga ekitali kituufu, naamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we;
15. naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go;
16. N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go; entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.’ ”
17. Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabibuulira Dawudi.
18. Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti, “Nze ani, ayi Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
19. Naye n'ekyo Ayi Mukama Katonda kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubiza bingi ezzadde lyange. Ayi Mukama Katonda era n'ekyo okimanyisizza.
20. Era kiki ekirala nate, nze Dawudi ky'enyinza okukugamba? Kubanga Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo.
21. Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, n'otegeeza omuddu wo.
22. Ky'obeeredde omukulu, ayi Mukama Katonda; kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda mulala wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe.
23. Era ggwanga ki mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yenunulira okuba abantu be! Ebintu ebikulu eby'entiisa bye wa bakolera byayatikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne bakatonda baabwe.
24. Bo Abaisiraeri n'obafuula abantu bo emirembe gyonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
25. Era kaakano, ayi Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde.
26. Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti, ‘Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri, n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.’
27. Kubanga ggwe, ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba;’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋaanga okukusaba okusaba kuno.
28. Era nno, ayi Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi;
29. kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna; kubanga ggwe, ayi Mukama Katonda, okyogedde, era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.”
1. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula; n'abawambako ekibuga Mesegamma.
2. Awo n'awangula Abamowaabu, n'abagalamiza wansi mu nnyiriri ssatu (3), n'attako ennyiriri bbiri (2) n'alekawo lumu. Awo Abamowaabu ne baba baweereza ba Dawudi ne bamuwanga emisolo.
3. Era Dawudi n'awangula ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yali agenda okujeemulula amatwale ge agali waggulu w'omugga Fulaati.
4. Dawudi n'amuwambako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu (1,700), n'abatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), embalaasi zonna ezisika amagaali Dawudi n'azitema enteega, naye neyerekerawo ez'amagaali kikumi (100).
5. Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000)
6. Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
7. Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
8. Nnaggya ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, ebikomo bingi nnyo.
9. Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri,
10. n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amuwangula; kubanga yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo;
11. n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu bye yali aggye ku mawanga ge yawangula;
12. okuva mu Busuuli, Mowaabu, Abaana ba Amoni, Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba.
13. Dawudi n'ayatikirira n'eyegulira erinnya. Bwe yakomawo n'atta aba Edomu omutwalo gumu mu kanaana (18,000) mu Kiwonvu eky'Omunnyo.
14. N'ateeka ebigo okubuna Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga okuwangula buli gye yagendanga.
15. Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; Dawudi n'alamula abantu be mu mazima n'obwenkanya.
16. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza;
17. Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Seroya ye yali omuwandiisi;
18. Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi baali bakabona.
1. Owulirenga eddoboozi lyange, Ayi Katonda, mu kwemulugunya kwange; Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe.
2. Onkweke okuva mu nkwe ez'ekyama ez'ababi, okuva mu ntegeka ez'abakozi b'obubi; N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu;
3. Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala, Abalagiriza ebigambo eby'obukambwe ng'obusaale,
4. Balasa mu kyama oyo eyatuukirira, Baamulasa nga talaba, ne batatya.
5. Bagumyagana emyoyo nga bateesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti, “Ani anaagiraba?”
6. Ani ayinza okunoonyereza ku misango gyaffe? Tulowoozezza ku ntegeka ennekusifu. Kubanga okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biba bye buziba!
7. Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n'akasaale nga tebalowooza.
8. Olw'olulimi lwabwe alibaleetako okuzikirizibwa, Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe.
9. Era abantu bonna banaatyanga; Ne batendereza omulimu gwa Katonda, Ne balowooza n'amagezi bye yakola.
10. Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga; Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga.
18. Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19. Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agabana omunyago wamu n'ab'amalala.
24. Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.
25. Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu.
26. Kuba nga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;
27. era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.
28. Temwewuunya ekyo; kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,
29. ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”
30. “Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.
31. Bwe nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima.
32. Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima.
33. Mmwe mwatumira Yokaana ababaka naye n'akakasa amazima.
34. Si lwa kuba njagala obujulirwa bw'omuntu, naye njogera ebyo mmwe mulokoke.
35. Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala okumala ekiseera kitono nga musanyukira mu kitangaala kye.
36. Naye obujulirwa bwe nnina bwe bukulu okusinga obwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu egyo gyennyini gye nkola, era gye gijulira nga Kitange ye yantuma.
37. Era Kitange eyantuma oyo yajulira ebyange. Eddoboozi lye temuliwulirangako n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.
38. Era n'ekigambo kye tekibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza.
39. Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange;
40. era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu.
41. Siweebwa bantu kitiibwa.
42. Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu.
43. Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza.
44. Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?
45. Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira.
46. Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga oyo yampandiikako.
47. Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.