Bible in one year

1. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri;
2. n'agamba Alooni nti, “Twala ente ennume ento okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa; nga teziriiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama.
3. Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti, ‘Mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, eziwezezza omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
4. n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta; kubanga leero Mukama anaabalabikira.’ ”
5. Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.
6. Musa n'ayogera nti, “Bino Mukama bye yabalagira okukola; era ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.”
7. Musa n'agamba Alooni nti, “Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu; oweeyo ekiweebwayo eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.”
8. Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe.
9. Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi; n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto,
10. naye amasavu n'ensigo n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera ku kyoto; nga Mukama bwe yalagira.
11. Ennyama n'eddiba n'abyokera ebweru w'olusiisira.
12. N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.
13. Ne bamuleetera ebitundutundu bye kiweebwayo ekyokebwa kinnakimu, n'omutwe; n'abyokera ku kyoto.
14. N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
15. N'aleeta ekiweebwayo olw'ekibi ku lw'abantu; naddira embuzi n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga bwe yakoze eyolubereberye.
16. N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali.
17. N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako olubatu, n'abwokera ku kyoto awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya.
18. Era n'atta ente n'endiga ennume, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ku lw'abantu. Abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.
19. Naddira n'amasavu g'ente n'ag'omukira gw'endiga n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekitundu ekisinga obulungi ku kibumba;
20. n'abiteeka ku bifuba eby'ensolo ezo, n'abireeta awali ekyoto n'addira amasavu n'agookera ku kyoto.
21. Alooni n'addira ebifuba n'ebisambi ebya ddyo n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama nga Musa bwe yalagira.
22. Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'akka ng'amaze okuwaayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiweebwayo olw'emirembe.
23. Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu, bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa; awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
24. Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu; awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu, ne bavuunama amaaso gabwe okuwa Katonda ekitiibwa.
1. Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako eby'okwoteza, ne bawaayo omuliro omulala Mukama gw'ataalagira.
2. Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira mu maaso ge.
3. Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti, “Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti, ‘Naatukulizibwanga mu abo abampeereza era n'agulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Alooni ne yeesirikira.
4. Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri, kojja wa Alooni, n'abagamba nti, “Musembere, musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye mu Weema entukuvu, mugitwale ebweru w'olusiisira.”
5. Awo ne basembera, ne basitulira emirambo mu ngoye zaagyo ne bagitwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bwe yalagira.
6. Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti, “Temutankuula nviiri zammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era Mukama aleme okusunguwalira ekibiina kyonna; naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya okwo Mukama kw'ayokezza.
7. Temufuluma mu mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa; kubanga amafuta ga Mukama ag'okutukuza gali ku mmwe.” Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.
8. Mukama n'agamba Alooni nti,
9. “Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza kyonna, ggwe n'abaana bo, bwe munaabanga mugenda okuyingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu muleme okufa. Lino linaabanga etteeka eritalijjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna.
10. Mwawulengamu ebya Katonda okuva ku bikozesebwa ebya bulijjo, ebyo ebirongoofu, n'ebitali birongoofu;
11. era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna ge nnabalagira nga mpita mu Musa.”
12. Musa n'agamba Alooni ne batabani be abaasigalawo: Eriyazaali ne Isamaali nti, “Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, era nga tekizimbulukusiddwa, mukiriire ku mabbali g'ekyoto, kubanga kye kitukuvu ennyo;
13. era munaakiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo n'abaana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
14. Naye ekifuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, n'ekisambi ekisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaabiriiranga mu kifo ekirala kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo byabaweebwa okuba omugabo gwammwe ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.
15. Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era binaabanga bibyo, n'abaana bo, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna, nga Mukama bwe yalagira.”
16. Awo Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti,
17. “Lwaki temwaliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo ekitukuvu? Ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu maaso ga Mukama.
18. Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; mwandikiriiridde mu watukuvu, nga bwe nnalagira.”
19. Awo Alooni n'agamba Musa nti, “Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi, n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era onnenyezza olw'ebyo, kale singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?”
20. Kale Musa bwe yawulira ebyo, n'amatira.
1. Gy'oli, ayi Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.
2. Ayi Katonda wange, nnaakwesiganga ggwe, Tondeka kuswala, Toleka balabe bange kunneewaanirako.
3. Tewali akulindirira aliswazibwa, Baliswazibwa abo abasala enkwe ez'obwereere.
4. Ondage amakubo go, ayi Mukama, Onjigirize empenda zo.
5. Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize, Kubanga ggwe Katonda wange andokola, Ggwe gwe nneesiga bulijjo.
6. Jjukira, ayi Mukama, okusaasira kwo okutaggwaawo n'ekisa kyo, Kubanga byaliwo okuva edda n'edda lyonna.
7. Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ensobi zange, Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ayi Mukama.
13. Omukazi omusirisiru aleekaana; Talina magezi, so taliiko ky'amanyi.
14. Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu,
15. Okuyita abo abayitawo, Abali ku ngendo zaabwe,
16. Nti, “Buli atalina magezi ajje wano.” N'oyo atalina kutegeera amugamba nti,
17. “Amazzi amabbe ge gawooma, N'emmere eriirwa mu nkukutu, ye esanyusa.”
18. Naye tamanyi ng'abafu bali eyo, Nga n'abagenyi be, bali magombe.
23. Amangwago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omubi;
24. n'akaaba nga agamba nti, “ Otwagaza ki Yesu ow'e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe, ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.”
25. Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “Bunira, muveeko.”
26. Awo omwoyo omubi ne gumusikambula ne gukaaba n'eddoboozi ddene ne gumuvaako.
27. Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Kiki kino? Kuyigiriza kuggya, alagira n'obuyinza n'emyoyo emibi ne gimuwulira!”
28. Amangwago ettutumu lye ne libuna ensi yonna eriraanye Ggaliraaya.
29. Amangwago bwe baava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda wamu ne Yakobo ne Yokaana mu nnyumba ya Simooni ne Andereya.
30. Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'agalamidde ng'alwadde omusujja. Amangwago ne bamubuulira bw'ali.
31. N'ajja n'amukwata ku mukono n'amugolokosa, omusujja ne gumuwonako, n'abaweereza.
32. Awo olweggulo, enjuba ng'egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abo abaaliko dayimooni.
33. Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku wankaaki.
34. N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba baddayimooni bangi, n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya.
35. Awo mu makya ennyo, ng'obudde tebunnalaba, Yesu n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu kifo eteri bantu n'asabira eyo.
36. Simooni n'abo abaali naye ne bamugoberera,
37. ne bamulaba ne bamugamba nti, “Bonna bakunoonya.”
38. N'abagamba nti, “Tugende awalala mu bibuga ebituliraanye, mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira.”
39. N'ayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna, ng'abuulira ng'agoba baddayimooni.
40. Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamiridde, ng'amugamba nti, “Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”
41. N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti, “Njagala, longooka.”
42. amangwago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka.
43. N'amukuutira nnyo, amangwago n'amusiibula
44. ng'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyanjule eri kabona, era oweeyo olw'okulongooka kwo ekyo Musa kye yalagira okukakasa abantu nti olongoose.”
45. Naye n'afuluma, n'agenda nga akyogerako, ng'asaasaanya amawulire ago, ne Yesu n'atayinza kuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye n'abeera mu bifo ebyekusifu; n'abantu ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.