Bible in one year

1. Yosiya yali wa myaka munaana we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka asatu mu gumu (31) mu Yerusaalemi.
2. N'akolanga ebirungi mu maaso ga Mukama, n'atambuliranga mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okugavaamu.
3. Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) mwe yatandikira okuggya mu Yuda ne mu Yerusaalemi ebifo ebigulumivu, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse.
4. Ne bamenyamenyera ebyoto bya Baali mu maaso ge, n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.
5. Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.
6. Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manase, n'ebya Efulayimu, n'ebya Simyoni okutuukira ddala mu bya Nafutaali, ne mumatongo gaabyo okubyetooloola.
7. N'amenyaamenya ebyoto, n'asekulasekula ebifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebyoto byonna kwe bayooterezanga obubaane, ebyali mu ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi.
8. Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'okufuga kwe, ng'amaze okulongoosa ensi ne Yeekaalu, n'atuma Safani, mutabani wa Azaliya, ne Maaseya eyafuga ekibuga, ne Yowa, mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we.
9. Ne bagenda eri Kirukiya, kabona asinga obukulu, ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu bantu ba Manase ne Efulayimu, ne mu bitundu ebirala byonna ebya Isiraeri, ne mu Yuda yonna, ne mu Benyamini, ne ku b'omu mu Yerusaalemi.
10. Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwe ennyumba ya Mukama. Abo be basasulanga abakozi abaddaabirizanga n'okulongoosa ennyumba ya Mukama.
11. Ne bawa ababazzi n'abazimbi effeeza okugula amayinja amabajje, n'emiti egy'okuddaabiriza ennyumba, bassekabaka ba Yuda ze baalagajjalira okuddaabiriza.
12. Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa. Abaabalabiriranga baali bano: Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'omu lulyo lwa Merali; Zekkaliya ne Mesullamu, ab'omu lulyo lwa Kokasi. Abaleevi bonna baali bakugu mu kukuba ebivuga.
13. Era be baalabiriranga abeetissi b'ebintu, ne bakozesa bonna abaakolanga emirimu egya buli ngeri. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi n'abalala nga be bakulira abaggazi.
14. Awo bwe baali baggyayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'Amateeka, Mukama ge yawa nga ayita mu Musa.
15. Awo Kirukiya n'agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo ekyamateeka, mu nnyumba ya Mukama.” Kirukiya n'awa Safani ekitabo.
16. Awo Safani n'atwala ekitabo ekyo eri kabaka, era n'ategeeza ne kabaka nti, “ Byonna abaddu bo bye baalagirwa baabikola.
17. Era baggyeemu effeeza ezibadde mu nnyumba ya Mukama, ne bazikwasa abalabirira omulimu n'abakozi.”
18. Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Safani n'akisomera kabaka.
19. Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'omu Kitabo ky'Amateeka, n'ayuza ebyambalo bye.
20. Awo kabaka n'alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni, mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng'agamba nti,
21. “mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abo abaasigalawo mu Isiraeri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi, kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama, okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino.”
22. Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi, muzzukulu wa Kasula, omuwanika w'ebyambalo, eyabeeranga mu Yerusaalemi, mu kitundu ekipya. Ne boogera naye ku nsonga eyo.
23. N'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti: Mugambe omusajja obatumye gye ndi
24. nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomedde kabaka wa Yuda:
25. kubanga banvuddeko ne bookereza obubaane bakatonda abalala, era bansunguwaziza n'emirimu gyonna egy'engalo zaabwe. Obusungu bwange kyebuvudde bufukibwa ku kifo kino, era tebujja kuzikira.’
26. Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde,
27. ebifa ku kifo kino, n'abo abakibeeramu, omutima gwo ne guba mugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo, n'okaaba amaziga mu maaso gange, nange nkuwulidde.
28. Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'oziikibwa mu ntaana yo mirembe, so toliraba bubi bwonna bwe ndituusa ku kifo kino ne ku abo abakirimu.’ ” Ne baddayo ne babuulira kabaka ebigambo ebyo.
29. Awo kabaka n'atuma, n'akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yerusaalemi.
30. Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi, ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asoma nga bawulira ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano, ekyazuulibwa mu nnyumba ya Mukama.
31. Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, okumuwuliranga, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, okutuukirizanga ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
32. Awo n'akubiriza bonna abaaliwo mu Yerusaalemi na ba Benyamini okukakasa nti bajja kugikuuma. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali.
33. Yosiya n'aggya eby'emizizo byonna, mu bitundu byonna ebya abaana ba Isiraeri. N'akubiriza bonna abaali mu Isiraeri, okuweereza Mukama, Katonda waabwe. Mu mulembe gwe gwonna, tebaalekayo kuweereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
1. Awo Yosiya n'akwata Embaga ey'Okuyitako kulwa Mukama mu Yerusaalemi. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwolubereberye.
2. N'ateeka bakabona mu bifo eby'obuvunaanyizibwa bwabwe mu nnyumba ya Mukama, n'abakubiriza okukola obulungi.
3. N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, era abatukuvu eri Mukama, nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu Yeekaalu, Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri gye yazimba. Si yakwetikanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri.
4. Era mweteeketeeke ng'ennyumba za bakitammwe bwe ziri mu mpalo zammwe, nga mugoberera entegeka eyawandiikibwa Dawudi kabaka wa Isiraeri, ne Sulemaani mutabani we.
5. Era muyimirire mu Kifo Ekitukuvu, nga mugoberera ebibinja by'ennyumba za bajjajja ba baganda bammwe abatali Baleevi, buli kibinja kibeeko ab'ennyumba ya bajjajja b'Abaleevi.
6. Era mutte omwana gw'endiga ogw'Embaga ey'Okuyitako, mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.”
7. Awo Yosiya n'atoola okuva mu bisibo bye abaana b'endiga n'ab'embuzi, emitwalo esatu (30,000), n'ente ennume enkumi ssatu (3,000), n'aziwa abantu bonna abaaliwo abatali Baleevi okuba ebiweebwayo olw'Embaga ey'Okuyitako.
8. N'abakungu be nabo ku lwabwe, ne bawa abantu ne bakabona n'Abaleevi ebintu eby'okukozesa. Kirukiya, Zekkaliya ne Yekyeri, abakulira ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi bbiri mu lukaaga (2,600), n'ente ennume bisatu (300) okuba eze biweebwayo olw'Okuyitako.
9. Konaniya, Semaaya, Nesaneeri, baganda be, ne Kasabiya, Yeyeeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi ttaano (5,000), okuba ebiweebwayo olw'Okuyitako.
10. Bwe kutyo okweteekateeka okw'okuweereza bwe kwaggwa, bakabona ne bayimirira mu kifo kyabwe, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali.
11. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, Abaleevi ne bagubaaga, bakabona ne bamansira omusaayi, nga gubaweebwa Abaleevi.
12. Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, babigabire abantu abatali Baleevi, mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ne ku ente.
13. Ne bookya omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, nga bwe kiragirwa. N'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu sseffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu abantu bonna abatali Baleevi.
14. Oluvannyuma Abaleevi ne beeteekerateekera bokka ne baateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni, kubanga bakabona tebaalina bbanga olw'omulimu ogw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka era ne baateekereteekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni.
15. N'abayimbi ab'olulyo lwa Asafu baali mu kifo kyabwe, nga Dawudi, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka bwe balagira. N'abaggazi baali ku buli luggi, tebaava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
16. Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olw'okukwata Okuyitako, n'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama, ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali.
17. Abaana ba Isiraeri abaaliwo mu kiseera ekyo ne bakwata Okuyitako, n'embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, okumala ennaku musanvu.
18. Yali tewabangawo mbaga ya ng'eyo mu Isiraeri, okuva ku biro bya Samwiri nnabbi, ng'eyaliwo mu kiseera kya Yosiya. Bakabona, n'Abaleevi n'ab'omu Yuda bonna, n'ab'omu Isiraeri, n'ab'omu Yerusaalemi baaliyo.
19. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa Yosiya, mwe baakwatira Okuyitako okwo.
20. Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya ng'amaze okuteekateeka Yeekaalu, Neeko kabaka w'e Misiri n'alumba Kalukemisi ku Mugga Fulaati: Yosiya n'agenda okumulwanyisa.
21. Naye Neeko n'amutumira ababaka ng'agamba nti, “Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? Ku mulundi guno sizze kulumba ggwe, wabula ennyumba gye nnwana nayo, Katonda andagidde okwanguwa. Vva ku Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.”
22. Naye Yosiya n'atamuwuliriza bigambo bya Neeko, Katonda bye yamwogeza, naye ne yeefuulafuula n'agenda okulwanira mu kiwonvu Megiddo.
23. Abalasi b'obusaale ne balasa kabaka Yosiya; kabaka n'agamba abaddu be nti, “Munziggyeewo, kubanga nfumitiddwa nnyo.”
24. Awo abaddu be ne bamuggya mu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye eryokubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Ab'omu Yuda bonna n'ab'omu Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya.
25. Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya, n'abayimbi bonna abasajja n'abakazi ne bagifuula mpisa mu Isiraeri, okuyimba ku Yosiya nga bamukungubagira n'okutuusa ne leero. Era ennyimba zaabwe zaawandiikibwa mu z'okukungubaga.
26. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'agoberera ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama,
27. n'ebikolwa bye ebyasooka n'eby'asembayo byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.
1. Awo abantu ab'omu Yuda ne baddira Yekoyakaazi, mutabani wa Yosiya ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe mu Yerusaalemi.
2. Yekoyakaazi yali wa myaka abiri mu esatu (23) we yatandikira okufuga, n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi.
3. Kabaka w'e Misiri n'amugoba ku ntebe e Yerusaalemi, n'aweesa ensi omusolo gwa talanta kikumi (100) eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu.
4. Neeko, Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi, okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'akyusa erinnya lye n'amutuuma Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi e Misiri.
5. Yekoyakimu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi.
6. Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'amulumba, n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni.
7. Era Nebukadduneeza n'atwala ku bintu eby'omu nnyumba ya Mukama e Babbulooni, n'abiteeka mu lubiri lw'e Babbulooni.
8. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye yakola n'ebyo bye yasobya, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n'amusikira.
9. Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yatandikira okufuga, n'afugira emyezi esatu ne ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
10. Awo mu kiseera ky'omwaka ebimera mwe bitojjerera, kabaka Nebukadduneeza n'amutumya n'abamuleeta e Babbulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'ateekawo Zeddekiya muganda wa Yekoyakini okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
11. Zeddekiya yali wa myaka abiri mu gumu (21) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi.
12. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi, n'ateetoowaliza Yeremiya nnabbi, eyamubuuliranga ebyavaanga ewa Mukama.
13. Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda nti anaamuwuliranga, naye n'aguguba n'akakanyaza omutima gwe, n'atakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri.
14. Era nate bakabona bonna abakulu, n'abantu ne basobya nnyo, ne bagobereranga emizizo gyonna egy'ab'amawanga, ne boonoona ennyumba ya Mukama gye yatukuza mu Yerusaalemi.
15. Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga ababaka be, awatali kwosa, kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera:
16. naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa Mukama lwe yasunguwalira ennyo abantu be, nga takyayinza kubasonyiwa.
17. Kyeyava aleeta kabaka w'Abakaludaaya okubalwanyisa, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ya Mukama, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota. Katonda bonna yabawaayo mu mukono gwe.
18. N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebinene ne bitono, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka, n'eby'abakungu be, byonna n'abireeta e Babbulooni.
19. Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
20. N'abo abaawona okuttibwa n'abatwala e Babbulooni ne baba baddu be, ne baba batabani be, okutuusa ku bufuzi bw'obwakabaka bw'Abaperusi.
21. Ekyo kyabaawo okutuukiriza ekigambo kya Mukama kye yayogera nga ayita mu Yeremiya nti, “Ensi eribeera matongo okumala emyaka nsanvu (70), okusasula Ssabbiiti ezitaakuumibwa.”
22. Awo mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza Kuulo kabaka w'e Buperusi, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa nti:
23. “Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Kale buli ali mu mmwe ku bantu be, ayambukeyo, Mukama Katonda we abeere wamu naye.”
1. Otege okutu kwo, Ayi Mukama, onziremu; Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu.
2. Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda. Ayi ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.
3. Onsaasire, Ayi Mukama; Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde.
4. Osanyuse emmeeme y'omuddu wo; Kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe, Ayi Mukama.
5. Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.
13. Aziba amatu ge omwavu ng'akaaba, Naye bwalikaaba, taliwulirwa.
14. Ekirabo ekiweebwa mu kyama kikkakkanya obusungu, N'okuyiiyiza omuntu ekirabo, kimumalako ekiruyi.
13. Awo Pawulo n'alyoka addamu nti, “Mukola ki ekyo? Okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu.”
14. Bwe twalemwa okumukkirizisa ne tumuleka, ne tugamba nti, “Mukama waffe ky'ayagala kikolebwe.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.