19. Abayisirayeli baayita mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu. Naye amagaali ga kabaka w'e Misiri awamu n'embalaasi ze n'abazeebagala, olwayingira mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi, ne gababuutikira.
20. Awo Miriyamu omulanzi, mwannyina wa Arooni, n'akwata ensaasi, abakazi bonna ne bamugoberera nga bakuba ensaasi era nga bazina.
22. Awo Musa n'akulembera Abayisirayeli okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne batuuka ku ddungu ly'e Suuri. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, ne batazuula mazzi.
23. Bwe baatuuka e Mara, ne batayinza kunywa mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Mara.
24. Abantu ne beemulugunyiza Musa nga bagamba nti: “Tunaanywa ki?”
25. Musa ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amulaga omuti, Musa n'agusuula mu mazzi ne gafuuka amalungi. Eyo Mukama gye yabaweera amateeka ge banaagobereranga, era eyo gye yabagereza.
26. N'agamba nti: “Bwe muliwulira n'obwegendereza, nze Mukama Katonda wammwe bye mbagamba, ne mukola ebituufu mu maaso gange, ne mutuukiriza amateeka gange, era ne mukwata bye mbalagira byonna, siribalwaza ndwadde ze nalwaza Abamisiri, kubanga Nze Mukama abawonya mmwe.”
27. Awo ne batuuka mu Elimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'emikindu ensanvu, ne basiisira awo awali amazzi.
1. Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu Elimu, era ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri kasookedde bava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu ly'e Siini, eriri wakati wa Elimu ne Sinaayi.
2. Eyo mu ddungu, Abayisirayeli bonna ne beemulugunyiza Musa ne Arooni,
3. nga bagamba nti: “Waakiri Mukama yandituttidde mu nsi ey'e Misiri, gye twatuulanga awali entamu z'ennyama n'emmere, ne tulya ne tukkuta. Naye mwatuleeta mu ddungu lino, mulyoke mussise ekibiina kino kyonna enjala.”
4. Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano ŋŋenda okubatonnyeseza emmere okuva mu ggulu. Abantu banaafulumanga buli lunaku okukuŋŋaanya emmere ebamala olunaku olwo. Mu ngeri eyo ndyoke mbageze, ndabe oba nga banaakuumanga amateeka gange.
5. Ku lunaku olw'omukaaga banaakuŋŋaanyanga ne bayingiza ya mirundi ebiri ku eyo gye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
6. Awo Musa ne Arooni ne bagamba Abayisirayeli bonna nti: “Olwaleero olweggulo munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri.
7. Era enkya munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Kale ffe baani, mulyoke mwemulugunyize ffe?”
8. Awo Musa n'agamba nti: “Olweggulo Mukama ye anaabawa ennyama, ne mulya, n'enkya ye anaabawa emmere ne mukkuta, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Naye ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula mwemulugunyiza Mukama.”
9. Musa n'agamba Arooni nti: “Gamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ”
10. Arooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ne bakyuka ne batunula mu ddungu, amangwago ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire.
13. Atemya ku maaso, aseesa ebigere, n'awenya n'emikono gye.
14. Mu ndowooza ye enkyamu, ateesa kukola bya ffujjo! Asiga bya bukyayi mu balala.
15. Kyaliva agwa ku kibabu ky'aliba talindiridde. Alimenyekawo mangu, nga tewali w'awonera.
23. Awo Yesu bwe yakomawo mu Ssinzizo, bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja w'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola bino? Era ani yakuwa obuyinza buno?”
24. Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munaakinziramu, olwo nange nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola bino.
25. Ani yatuma Yowanne okubatiza: Katonda, oba bantu?” Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tuddamu nti: ‘Katonda ye yamutuma’, ajja kutubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne ono temwamukkiriza?’
26. Ate singa tuddamu nti: ‘Abantu be baamutuma,’ tutya abantu: kubanga bonna bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.”
27. Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bino.
28. “Kale mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri, n'agenda eri omubereberye, n'amugamba nti: ‘Mwana wange, olwaleero genda okole mu nnimiro y'emizabbibu.’
29. Ye n'addamu nti: ‘Ŋŋaanye.’ Kyokka oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda n'akola.
30. Kitaabwe era n'agenda eri owookubiri n'amulagira ekintu kye kimu. Ye n'addamu nti: ‘Ka ŋŋende, ssebo.’ Kyokka n'atagenda.
31. Kale ani ku bombi eyakola ekyo kitaawe kye yayagala?” Ne baddamu nti: “Omubereberye.” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya babasooka mmwe okuyingira Obwakabaka bwa Katonda,
32. kubanga Yowanne Omubatiza yajja gye muli, n'abalaga ekkubo ettuufu, ne mutamukkiriza. Naye abasolooza b'omusolo ne bamalaaya, bo baamukkiriza. Ekyo mwakiraba, naye n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.”