3. naye Katonda yagamba nti, ‘temulyanga ku bibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, newakubadde okugukwatangako muleme okufa.’”
4. Omusota ne gugamba omukazi nti, “Okufa temulifa.
5. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.”
6. Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne bba naye n'alya.
7. Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne bategeera nga baali bwereere; ne batunga amakoola g'emiti ne beekolera eby'okwambala.
8. Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'akawungeezi, omusajja ne mukazi we ne beekweka wakati mu miti egy'omu lusuku, Mukama Katonda aleme okubalaba.
15. nange n'ateeka obulabe wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi; alikubetenta omutwe gwo, naawe olibetenta ekisinziiro kye.”
16. N'agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo obulumi bwo mu kuzaala abaana; mu bulumi mwonoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri balo, naye anaakufuganga.”
17. N'agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti, ‘Togulyangako,’ ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga eby'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo;
19. Mu ntuuyo ez'omu maaso go mwonooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggyibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.”
20. Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
21. Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza.
8. Kayini n'ayogera ne Abeeri muganda we n'amugamba nti, “Tugende mu nnimiro.” Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abeeri muganda we n'amutta.
1. Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abasajja abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi,
2. ne babuuza nti, “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.”
3. Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna.
9. Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda; laba ne baddamu okulaba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awaali omwana.
10. Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essanyu lingi nnyo nnyini.
11. Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.
12. Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
13. Laba, bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, n'amugamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba, kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.”
14. Awo Yusufu n'azuukuka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'agenda e Misiri;